Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga, IGP Martin Okoth Ochola ategeezezza bannamawulire nti abatemu abalumbye abapoliisi y’ebidduka e Luweero nebatta omu ku basirikale n’omulala nabuukawo n’ebisago bagenderedde kutwala mmundu basobole okuzeyambisa mu bubbi.
Ochola agamba nti batandikiddewo okunoonyereza naye ku ssaawa eno tebanamanya kituufu kyavuddeko bulumbaganyi bino naye kirabika bano babadde baagala kutwala mmundu bazeeyambise okubba abantu.
Ono yannyonnyodde nti kiva bakyogera basinziira ku ky’okuba nti mu kifo kino wabaddewo abapoliisi abalala abatabadde na mmundu naye bbo tebalumbiddwa.
Ochola yavumiridde ekikolwa kino nategeeza nti kikyamu okulumba abapoliisi ababeera bali ku mirimu era omuntu yenna anaakwatibwako nga yeenyigira mu bikolwa bino agenda kuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Mu bulumbaganyi buno, abatemu basse Ronald Busingye oluvannyuma lw’okumutematema ate Josephat Twinamatsiko gweyabadde naye nebamutema ku mugongo n’oluvannyuma nebatwala emmundu zabwe zombi.
Bano beeyongeddeyo nebakuma omuliro ku mmotoka y’ekika kya Fuso eyabadde efiiridde mu kkubo nga mu kiseera kino yabadde eri mukukanikibwa.
Oluvannyuma bano bemuludde nga bakozesa emmotoka gyebabadde basimbye ku ssomero lya Kiwumpa Church of Uganda.
Mu bubaka bwe, Ochola yasaasidde aba famire y’omugenzi Ronald Busingye era nayagaliza Josephat Twinamatsiko okusuuka obulungi nga ono yaggyiddwa mu ddwaliro e Luweero naleetebwa e Kampala okufuna obujjanjabi obusingawo.
Ochola yagumizza bannansi nga bwebagenda okuyigga abatemu bano basimbibwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.