Amawulire

IGP Ochola alabudde abapoliisi.

Ssaabaduumizi wa Poliisi, IGP Martin Okoth Ochola alabudde abapoliisi okwegendereza nga bakola emirimu gyabwe era nabaako n’ abapoliisi babiri baguddeko emisango gy’obutemu.

Bano ababiri baali baweerezebwa mu UNRA wabula gyebuvuddeko baliko omukazi gwebakuba amasasi nebalumya n’abantu abalala babiri balamba.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, omwogezi wa poliisi, Fred Enanga  agambye nti bano okuli Evelyn Akello ne Elisa Muhumuza bakuba emmotoka y’ekika kya Isuzu amasasi eyalimu Eriya Tamale Twase ne mukyala we Violet Nansereko awamu ne mutabani wabwe.

Nansereko essasi lyamukwata mu liiso naddusibwa mu ddwaliro e Mulago gyeyafiira.

“Nga 28 September,  ku ssaawa 10 ez’olweggulo e  Bukasa mu Wakiso, abapoliisi bano ab’ekitongole ekirwanyisa obutujju mu poliisi abasindikibwa mu UNRA okubayambako okulawuna enguudo bwebaali mu bikwekweto byabwe mu mmotoka Toyota Hiace, basanga Isuzu eyali evugibwa Twase nga esimbye ku kkubo era wano Akello yavaamu nagenda weyali, Twase bweyamwekanga yasimbula era wano Muhumuza nabakubamu amasasi negakwata abagirimu,” Enanga bw’annyonnyodde.

Enanga agamba nti oluvannyuma omukazi Nansereko yatwalibwa mu ddwaliro e Mulago gyeyafiira bwebatyo nebasalawo basajja babwe  okubaggulako omusango gy’obutemu kuba mu kifo ky’okukuuma abantu ate badda mukubakubamu masasi.

“Ssaabaduumizi avuddeyo nalabula abapoliisi okwewala okukuba amasasi mu mmotoka ezitambula awatali kusooka kuzekaanya era bweba bakukikola balina kusooka kukakasa nti zabulabe,” Enanga bw’ategeezezza.

Enanga agasseeko nti bakukola kyonna okulaba nti abapoliisi bonna abeetaba mukunenya amateeka bakangavvulwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top