Amawulire

Inebantu Jovia Mutesi abotodde ebyama.

 

Mu kiseera nga bangi ku bannansi bakyebuuza ku nsibuko y’omukwano wakati wa Kyabazinga William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV ne Inebantu Jovia Mutesi, nate ebyama byogeddwa.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, ku mukolo gwe mbaga e Igenge, Inebantu Mutesi yawadde abantu essanyu.

Ku mukolo, Kyabazinga Gabula bwe yabadde ayogerako eri abantu be, yasiimye nnyo abantu ab’enjawulo abakoze ekinene omukolo okutambula obulungi omuli Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, famire ye, bannabyabufuzi, maama Rebecca Alitwala Kadaga, ebitongole eby’enjawulo, abantu be.

Yasuubiza okulaga Inebantu Mutesi omukwano obulamu bwe bwonna.

Ate Inebantu Mutesi bwe yafunye omukisa okubuuza ku bantu be, yasoose okwebaza abantu bonna omuli famire zombi n’okusingira ddala famire ya Kyabazinga, okumuzaalira omulenzi.

Inebantu Mutesi agamba nti okufuna obuzibu bwe yali agenda ku Yunivasite okusoma, yalina okunoonya omuntu gwalina okwebuzaako.

Mu kiseera ekyo, Kyabazinga yali mukwano gwe, era yakuba essimu okwebuuza.

Wadde yalina okugenda ku Yunivasite e Makerere, yagenda Nkozi era yasoma okutuusa lwe yafuna diguli esooka.

Agamba mu kiseera ng’ali ku Yunivasite, Kyabazinga yamukuba akaama k’omukwano era laavu yatandikirawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top