Amawulire

Isma aziikiddwa wakati mu bigambo ebikaawu.

 

Omubiri gwa Isma Lubega Tusuubira amanyiddwa nga Isma Olaxes gugalamizidwa ku biggya bya bajajjaabe ku kyalo Katwe mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono.

Omulambo gwa Isma Gutuuse ku kyalo Katwe e Mukono ku ssaawa 8:00 wakati mu maziga okuva mu nnamungi wa bantu, okubadde ab’eng’anda n’emikwano era nga gututwaliddwa butereevu mu nnyumba ye ey’olubeerera.

Akulembeddemu okubuulira mu kuziika kuno, Sheikh Yunus Kizito akuutidde abakyali abalamu okufaayo ennyo okukolera ebintu ebinaasobola okubayingiza ejjana era n’asaba Bannayugada naddala abakozesa emikutu gya yintaneeti okwegendereza ebyo bye boogera.

Bo bannamawulire ab’okumitimbagano (bloggers) n’abayimbi nga bakulembeddwa BebeCool, batenderezza nnyo obukugu Isma bw’abadde akozesa okulambika ensonga za masanyu n’okutumbula muziki wa Uganda, era ne bategeeza nti bamusaaliddwa nnyo.

Abamu balaze obutali bumativu olw’okuttibwa kw’abantu ab’enjawulo kyokka nga tewali kikolebwa era bali mu kutya.

Aba ttiimu MK nga bakulembeddwa Balam Barugahale bavuddeyo ne bategeeza nga gavumenti bw’etatta bantu baayo era ne basaba wabeewo okuwuliziganya mu mbeera eriwo.

Hajji Muhammed Kasajja taata w’omugenzi asabye abakungubanzi okusabira taata w’omugenzi olw’okusoomooza kw’alimu era ne yeebaza abantu okuyimirira awamu naye.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top