Omuyimbi James Lubwama amayiddwa nga pages aggadde. Lubwama ayimbira mu bbandi y’Abeeka abakubira mu bbaala ez’enjawulo mu Kambala. Yagattiddwa ne Lilian Kabasinguzi amanyiddwa nga Kyle ng’ono mufumbi wa lusaniya, mu bufumbo obutukuvu ku All Saints Cathedral e Nakasero. Abagenyi yabagabulidde ku Arches Gardens e Kisasi ku mukolo okwabadde abayimbi nga Henry Tigan, Levicxon, Michael Owuma, Ziggy D, Kenneth Mugabi, Azawi, Vyper Ranking ne Happy K ow’omulere. Bassereebu kwabaddeko Daggy Nice ne Andrew Kyamagero. Lubwama yeebazizza mukyala we olw’okubeera omugumiikiriza n’amuzazikira abaana babiri mu mbeera etaali nnyangu.
Lubwama amayiddwa nga pages aggadde Kyle.
By
Posted on