ebyamasanyu

Juliana Akomyewo Namuliro

Ku Mmande Juliana yalangiridde nga bw’ategese ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala nga August 15/2022.

Kino kizze oluvannyuma lw’okumala ebbanga ly’amyaka ng’esatu nga talabika ku siteegi.

Ate ekivvulu kyategese kirabika ky’abantu abaakolamu bokka kubanga okuyingira osasula Shs. 150,000 n’emmeeza obukadde busatu . Agava mu kisaawe ky’okuyimba gagamba nti abavubuka ba B2C be baasooka okuteekayo ekivvulu ekigenda ku Freedom City ku lunaku luno.

Kyoka abagoberera ebya muziki bagamba nti abawagizi ba Juliana Kanyomozi baawufu nnyo ku ba B2C nga bw’olaba n’ebifo gye bategekedde byawukana.

Gye buvuddeko Juliana yalina ekivvulu kye yalina okuyimbako mu club Govnor kyokka n’atayimba oluvannyuma lw’abategesi b’ekivvulu kino obutatuukiriza byabasabibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top