Gavumenti bagiwadde amagezi okumalawo bbeyi y’ ebintu erinye ennyo. Nga bana uganda bali mu kusoberwa olw’ emiwendo gyebintu egirinye ennyo ensangi zino kumpi buli munna uganda atambula yeyogeza.
Abasubuzi mu ggwanga wansi w’ ekibiina mwebegatira ekimanyiddwa nga KAMPALA CITY TRADERS ASSOCIATION (KACITA) bavuddeyo nebawa gavumenti amagezi okusobola okumalawo ekizibu kino.
Tadius Musoke ono nga ye ssentebe wa KACITA ategezeza nga bwebawandiikidde minisitule yebyensimbi kumpenda mwerina okuyita okugonjola ekizibu kino.
AMAGEZI AGAWEREDDWA.
Okuteka sente mu ntambula y’olukale, KACITA agamba nti singa gavumenti eteka sente mu ntambula y’ olukale abantu nga basoobola okutambulira mu bus kino kiyamba okukendeza ku mafuta agakozesebwa muntambula eza ssekinomu.
Okutukiza entambula y’entambula ye ggaali y’omukka, KACITA akinoganyiza nga ettambula ye ggaali y’ omukka egyakukendeza ku mafuta agakozesebwa muntambula eyemmotoka.
Okulondola omuwendo gy’ ebintu mu mubutale. Mumbere yemu kacita agamba nti etabwe enddala wegidde ye gavumenti bokwesulirayo ogwanagamba okulondola emiwendo gy’ ebintu ku butale bangi ku basubuzi okugufula omugano nebaseera abantu.
Abamakolero okukomya okutunda ku muntu owawansi.
Kacita alabudde gavumenti okusitukiramu ku makolero agatunda ebintu ku muntu asembayo ekimye omukisa abasubuzi okukola amaggoba olusi ekivirako okuwanika emiwendo.
Mumbera yemu omukwanaganya w’abasubuzi e mukono Isma Kaye owa kale and son ategezeza nga emiwendongy’ amafuta bwegitusa okubagoba mu busubuzi , isama agamba nti buli kyebetaga okukozesa kitambuzibwa namafuta bwatyo akowodde gavument okulowooza ennyo ku bbeyi yamafuta agatambuza ebintu.