Amawulire

Kanyama wa Uganda afiiridde e South Africa.

 

Enfa ya Munnayuganda Kanyama abadde akolera emirimu gye e South Africa etabudde mikwano gye.

Isa Baker Miiro Byandala yafiiridde mu ddwaliro mu kitundu ekiyitibwa Timbisa gye yaddusiddwa oluvannyuma lw’okugwiirwa ekirwadde eky’amangu.

Omu ku mikwano gya Byandala yategeezezza nti bakyetaaga okukwatagana ne poliisi ye South Africa okukola okunoonyereza ku kiki  ddala ekyavuddeko okufa kwa mukwano gwe.

Wabula okusinziira ku Sheikh Ali Ssekamatte Ssentebe wa Bannayunda abawangaalira mu kitundu kino, Byandala abadde atutte akabanga ka wiiki bbiri ng’atawaanyizibwa mu kussa.

Ssekamatte yagambye nti abasawo abasoose okukebera Byandala baazudde nga yali yakwatibwa ekirwadde kya nimoniya.

Ssekamatte yagambye nti Bannayuganda b’akulembera mu kitundu Byandala wabadde awangaalira ssaako naabo abali mu bitundu ebirala batandise okwekolamu omulimu gw’okulaba nga bakomyawo omulambo gwe.

Hajji Harouna Mutebi yagambye nti bazaalibwa Kidda mu Masaka mu maka g’omugenzi Haji Hassan Byandala.

Most Popular

To Top