Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asoomoozezza Bannayuganda okwettanira ebintu eby’enkizo naddala ebyobulimi, obulunzi n’ebirala bye bayinza okwenyigiramu beegobeko obwavu.
Yabadde ku kitebe ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku byobulimi n’obulunzi e Mukono, ekya NARO bwe yabadde alambula n’okwekenneenya emirimu egy’obukugu egikolebwa mu nnima ey’omulembe esinga okubaza ebirime eyeesigamizibwa ku ssaayansi, mu mukago aba NARO gwe batta n’Obwakabaka bwa Buganda gye buvuddeko.
Katikkiro yasoose kulambula pulojekiti ezikolebwa mu kifo kino omuli okugatta omutindo ku birime nga amatooke, emmwaanyi n’ebibala nga byonna birimibwa mu bifo ebifunda, enkola ey’omulembe ey’okwalula enkoko n’ebyennyanja, n’emirimu emirala.
Yasabye abantu okwenyigira mu misomo egitegekebwa mu bitundu gye babeera kibayambeko okugaziya okumanya kwabwe mu nsonga z’ebyobulimi n’obulunzi.
Dr. Barbra Mugwanya Zawedde, akulira eby’okunoonyereza mu NARO, yalaze okusoomoozebwa abalimi kwe basanga ensangi zino omuli; eddagala effu eritta ebirime era ery’obulabe eri obulamu bw’abantu, obutaba na ttaka we balimira n’ebirala.
Katikkiro asiimye obukugu bwa NARO mu kutumbula omutindo.
By
Posted on