Amawulire

Katikkiro Mayiga agabye omusaayi.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga omusaayi agugabidde ku kisaawe kya Old Kampala SSS mu ssaza Kyadondo.

Katikkiro agambye nti abantu balina okukolera awamu ku nsonga z’ebyóbulamu, ngámalwaliro mussibwamu ebikozesebwa, abasawo okusasulwa obulungi nókwongera okuzimba amaterekero gómusaayi.

Abadde ku

“Tulina byetubanja government era tubyetaaga, wabula ku byóbulamu tuli wamu awatali bukwakkulizo bwonna” Katikkiro

Omukolo guno gwetabyemu omuteesiteesi omukulu mu ministry yébyóbulamu  Dr.Diana Atwine agambye nti enkolagana wakati wóbwakabaka ne government eya wakati mu kusonda omusaayi ekoze kinene mukutaasa obulamu bwábantu abagwetaaga, omuli abalwadde ba covid 19,mukenenya,Nalubiri,ebola néndala.

Akuuma entebe ya Kaggo Ahmed Magandaazi yebazizza abantu ba Kabaka mu Kyadondo abagabye omusaayi naddala abagoba ba bodaboda.

Irene Nakasiita omwogezi wékitongole ki Uganda Red Cross Society agambye nti bukyanga kugaba musaayi  okwékikungo kutandika mu masaza ga Buganda,enkumi nénkumi zábantu abapya begasse mu kugaba omusaayi kyongedde ku bungi bwagwo.

Minister wa Buganda Owóbuwangwa Owek. Kiwalabye Male, mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, minister wa government ezébitundu Owek.Joseph Kawuki, nábantu abalala bangi nabo bagabye omusaayi.

Okugaba omusaayi mu Kyadondo kukomekkerezebwa nga 23 January,2023.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top