Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu ku bulabe obuli mu kutyoboola obutonde bwensi n’agamba nti kino kitta ebyenfuna.
Okwogera bino asinzidde ku mukolo mu Lubiri e Mmengo Obwakabaka kwebukulizza olunaku lw’obutonde bwensi n’agamba nti obutonde bwensi Uganda bwekyalina bwe bwataasiza abantu obutakosebwa nnyo muggalo ogwaleetebwa obulwadde bwa kkolona ssaako n’okupaluuka kwa bbeeyi y’ebintu.
” Omuggalo tegwatukosa nnyo kubanga twalina emmere, ate mulaba n’okupaluuka kw’ebbeeyi y’ebintu wadde tetusobola kulemwa kugamba ku gavumenti ebeereko ky’ekola era tukyayambiddwa nti wakyaliwo emmere.
N’olwekyo olwebyo mulaba obukulu bw’obutonde bwensi nga buvunanyizibwa bwa buli omu okubutaasa olw’emigaso gyaabwo,” Mayiga bwayogedde.
Wiiki y’Obutonde bwensi omwaka guno etambulidde wansi w’Omulamwa ogugamba nti “Obutonde bwensi bwamugaso eri ebitonde”.
Omukolo gwetabiddwako n’eyaliko Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Edward Kiwanuka Ssekandi yasabye abantu bonna okwenyigira mu mulimu gw’okukuuma obutonde bwensi nga basimba emiti wamu n’okutaasa amazzi
Minisita w’ettaka,obulimi,obutonde bwensi mu Buganda, Hajjat Mariam Nasejje Mayanja asabye gavumenti eyawakati ewe Obwakabaka ku buyinza obubusobozesa okukola emirimu gy’okukuuma obutonde bwensi kubanga bwebubeera mu bantu nga kyakutaasa obutonde bwensi.
Amb. Philip Idro nga y’akulira olukiiko olufuga ekitongole ki World Wide Fund for Nature nga bebamu ku bavujjirira Obwakabaka mu mirimu gy’okukuuma obutonde bwensi yakakasizza Obwakabaka nga bwebagenda okubukwatizaako mu kaweefube w’okubunyisa enjiri y’okutaasa obutonde okutuukira ddala mu masaza n’ebyalo.
Ku lwa gavumenti eyawakati Stephen Mugabi nga kamisona w’amazzi n’ebibira mu minisitule y’obutonde n’amazzi mu Uganda yategeezezza nga bwebagenda okukwatizaako Obwakabaka okutaasa obutonde nga bawaayo emiti 100000 ate aba National Forestry Authority bawaddeyo emiti 10000.
Omukolo gwetabiddwako Baminisita b’Obwakabaka okuli Noah Kiyimba, Hajj Amisi Kakomo, Ssentebe wa Disitulikiti ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, Abataka abakulu b’ebika, abaami b’amasaza n’abakulu abalala bangi.