Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abantu mu Buganda ne Uganda okwettanira omukutu gwa K2- Eggumidde okusobola okuganyulwa mu mpeereza ey’omulembe era bakulaakulane.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga yakukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, bweyabadde atongozza enteekateeka y’okubunyisa enjiri ya Airtel -K2 Egumidde mu masaza ga Buganda ag’enjawulo nga ali wamu ne bannamukago okuva mu kampuni ya Airtel.
“Emikago gikula bwe wabaawo obwesigwa wakati we njuyi zombi era nkakasa aba Airtel nti Obwakabaka bujja kukola ekisoboka okukuuma omukago ogukoleddwa. Bw’oba oyagala okubaako by’okola tambula naabalina ensa, nga K2 bwe yakola ku Airtel ” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga yategeezezza nti okuva lwe batta omukago ne Airtel mu 2018, K2 yajjula, era kati K2 eggumidde era n’obuweereza bwayo buggumidde nasaba abaami ab’Amasaza okukola obwa kitunzi bwa K2 mu Masaza gaabwe era bajagazise abantu.
Yakuutidde abaweereza bonna mu Bwakabaka okwettanira Obuweereza bwa K2. Yategezezza nti tewakyali nsonga yonna lwaki Minisita wa Kabaka; Ssenkulu, oba omuweereza wa Kabaka yenna alemererwa okukozesa K2 ng’ate eggumidde.
Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Minisita w’Ebyensimbi n’Okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, yannyonnyodde nti nga bayita mu nkola ya K2 eggumidde, baagala abantu ba Kabaka bakole bizineensi s nga bakozesa K2 eggumidde.
Owek. Waggwa yategezezza nti mu byenkizo K2 byerina kati by’ebyempuliziganya, amayengo n’okutambuza n’okutereka ensimbi awamu n’okuzisiga era abantu ba Nnyinimu basobole okufunirako amagezi ag’enjawulo nga bakozesa omutimbagano ku bbeeyi esinga okubeera wansi.
Ssenkulu wa Airtel mu Uganda, Manoji Murali, yagambye nti eky’enkizo ekiri ku Buganda kye ky’okuba nga abantu ba Kabaka bali mu buli kitundu kya Uganda, era oli asobola okusinziira gy’ali naawagira emirimu gya Kabaka nga anyiga *173# ne bw’aba talina line ya 0708 oba 0709.
Ssenkulu wa K2 Telecom, Omuk. Arthur Mawanda, yalaze nti mu kiseera kino K2, ewezezza ba kasitoma abasukka akakadde kamu (1m) nga bano bagenda kuganyulwa butereevu mu nkola empya ezijjidde mu kikapu kya K2 eggumidde omuli ‘internet’ edduka sipiidi, okusindika ssente n’ebirala.
Mu nteekateeka eno, Katikkiro Mayiga yakwasizza Abaami b’Amasaza essimu ekika kya sseereza eziweereddwayo aba Airtel bagende bakubirize abantu ba Kabaka beeyunge ku mukutu gwa K2 eggumidde.