Amawulire

Katikkiro Mayiga yatenderezza ekitongole ki Wells of Life olw’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu

Owek. Charles Peter Mayiga yatendereza ekitongole ki Wells of Life olw’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu ba Nnyinimu Ssaabasajja  Kabaka  nga bayita mu nteekateeka y’okusima Nayikondo.

Okwebaza kuno, Owek. Mayiga yakukoledde  mu nsisinkano gyabaddemu n’ab’ekibiina ki  ‘Wells Of Life’ ku Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nebateesa ku ngeri ez’enjawulo gyebasobola okwongera okutumbula enkolagana wakati w’ekitongole n’Obwakabaka bwa Buganda .

Owek. Mayiga yategeezezza nti wadde Uganda erina ennyanja n’emigga bingi abantu mwebasobola okuggya amazzi amayonjo naye batawaanyizibwa nnyo n’ekizibu  ky’okubunyisa amazzi  kino bwatyo neyeebaza bannamikago bano olw’obuyambi buno.

“Abagenyi bano bava mu kitongole ki Wells of Life naye omulimu gwabwe gwakunoonya nsimbi nebasima Nayikondo mu bitundu eby’enjawulo era mu Buganda twakasima Nayikondo eziwera 628 nga omwaka guno twakasima 21, oguwedde twasima 91 ate emabega ko 42, 2019Nayikondo 105 ate 2018 75,” Katikkiro Mayiga bweyategeezezza.

Eyakuliddemu aba  Wells of Life, Charlie Hedges,  yategeezezza nti baasalawo okukolagana ne Buganda olw’obulambulukufu era nategeeza nti omwaka guno bagenda kusima Nayikondo 820 era baddaabirize Nayikondo  180 nga awamu ze Nayikondo lukumi lulamba mu Buganda okutuusa ku bantu ba Kabaka amazzi amayonjo.

Hedges  yannyonnyodde nti amazzi kirabo ekyaweebwayo Katonda nga bo kyebakola kwekugezaako okugatuusa ku bantu abagetaaga era nakakasa nti bakwongera okutumbula obuyonjo mu bantu ba Kabaka nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo.

Kinajjukirwa nti aba Wells of Life, batta omukago n’Obwakabaka okubunyisa amazzi mu byalo mu masaza ga Buganda 18 era wetwogerera kati enzizi za Nayikondo 628 zezaakasimibwa okwetoloola Buganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top