Owek. Charles Peter Mayiga, asabye abantu mu Buganda okwongera okunyikiza ensigo y’obuntubulamu wakati mu buwereza obwenjawulo neeri abantu bebabeeramu.
Bino Owek Mayiga abyogeredde mu Mmisa ey’okusabira omwoyo gw’omugenzi Joseph Kanaaba, ku Ekereziya eya Francis Xavier e Bweya eggulo ku Mmande.
Joseph Kanaaba abadde mutabani w’Omutaka Kayita, Emmanuel Musoke Makaabugo, omukulu w’ekika ky’Envubu era yaliko akulira ttiimu y’omupiira eya SC Villa nga yafa ku Lwomukaaga.
Owek. Mayiga yagambye nti abantu bwe babeera abantubalamu baba beetoowaze, bayamba abalala, baba banyiikivu mu mirimu gye bakola, bamanya obuwangwa bwabwe n’ennono era bawa abantu abalala ekitiibwa. Mayiga yagasseeko nti omugenzi Kanaaba abadde n’ebisaanyizo byonna eby’omuntu mulamu.
Ono yavumiridde omuze ogw’okutiitiibya abantu abataliimu nsa nga basembezebwa ku mwanjo eyo mu bantu kyokka nga tebasobola kugasa balala bwatyo nasaba Nnamwandu Phoebe Kanaaba okufuna obuvumu akuze abaana.
Ekitambiro kya Mmisa kino kyakulembeddwamu Rev. Fr. Remigious Kasibante, eyayogedde ku omugenzi nga abadde muweereza ’Ekereziya mulungi nga agwa mu buli kiti kya bantu omuli abato, abakulu, n’abakadde.
Ku lw’abaana, Francis Balikuddembe Kanaaba, yayogedde ku kitaawe nga omuntu abadde afaayo eri abaana be wamu n’abantu abalala naddala baabadde aweereza nabo ku Keleziya e Bweya.
Nnamwandu Phoebe Kanaaba atenderezza nnyo bba Joseph Kanaaba olwomukwano gwabadde amulaga wamu nokuba omuntu afaayo ennyo ku bantu abalala.
Emmisa eno yeetabidwamu Katikkiro w’ekika ky’Omutima Joseph Mary Luberenga, abeebitiibwa awamu n’abantu abalala.