Amawulire

Katonga abooze.

 

Entambula esannyaladde ku nsalo ya district ye Gomba  ne Sembabule, amazzi g’omugga Katonga bwegongedde okubooga mu kitundu wegusalira ku luguudo oluva e Kyaayi Maddu Gomba okugenda e Ssembabule.

Enkuba etonnya mu bungi ennaku zino yeevuddeko amazzi g’omugga Katonga okubooga, ab’ebigere tebasala so nga n’emmotoka entono nazo zikaluubizibwa.

Omu kubatuuze Tandeka William owe Kyaayi Gomba  agambye nti waliwo omulunzi  atategeerekese mannya abadde atwala ente 5 okuzitunda my bitundu bye Sembabule, amazzi gazikulugusizza zonna zifiiriddemu.

Ebyo nga bikyaali awo,  abantu abakozesa oluguudo oluva mu mugga gwe Kaabasuma okudda kukyalo Kirungu, Masambira, okudda e Bukundugulu mu ggombolola ye Kyegonza mu district ye Gomba, nabo entambula ebakaluubiridde oluvannyuma lw’amazzi g’omugga Kaabasuma okuwaguza  negaziba oluguudo.

Oluguudo olwo Kabasuma Kirungu luviira ddala ku Luguudo olunene olwa kolaasi oluva e Mpigi okudda e Gomba, kyokka werutandikira mu mugga Kaabasuma tewayitika buli nkuba lwetonnya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top