Gavumenti ( KCCA ) erangiridde ebikwekweto ebilala ku batembeyi abaddukidde mu bitundu naddala division 5 ezikola Kampala okuli Nakawa , Lubaga , Makindye ne Kawempe nga webakoze mu Kampala gyebagobye abatembeyi ababade bakolera ku nguudo okusobola okutukirizza ekisuubizo kyokufuuka Kampala Smart City.
Kabuye kyofatogabye agambye nti abatembeyi abali eKalerwe, Bwaise, ne Nakawa basale amagezi bave mu bitundu bagenda banoonye ebifo ebilala omuli butale gyebabeera bakolera kubanga bagenda kutandka okubakolako ebikwekweto ne mu bitundu eb6etolodde Kampala okumalawo omujuzo .
Alabudde abasuubuzi abalina obuduuka bwa kiyosiko okuliraana enguudo bamunye babutwale mu byalo kubanga webanabatukako tebagya kubasasira bagya kumenya buli kimu nga bwebakoze ababade abkolera mu Kampala.
Mu bikwekweto ebyakoledwa mu Kampala abasuubuzi abasobye mu 100 bebakwatibwanga bagaanye okugondera ebiragir bya KCCA ebyokuva ku nguudo bano baasimbiddwa mu kkooti ya KCCA nebatwalibwa e Kitalya.
Abasuubuzi abakolera mu bitundu banukudde KCCA nti nga tenaba kubakolako lutalo esooke elowooze gyegenda okubasindikiriza kubanga tebalina takisi , oba boda nti ezikolera ku siteegi nemubutale gyebabasindika ebifo tebiliiyo emidaala abakulu mu gavumenti bagyeddizza dda gyabuseera tebagisobola kugipangisa nebalabula nti singa banamala gabasindikirizza bagya kukuma omuliro mu kibuga eggwanga ligwemu akasatiro.
Bino webigidde ng’abakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwa omubaka Francis Zaake Butebi owa Mityana Municipality balabudde nga bwebagenda okuteekowo embeera enzibu singa KCCA enasengula abatundira ku ngudo kubanga kikyamu okumala gagoba bantu nga tebasoose kubatekerateekera.
Mu kiseera Kampala yakendedde ku mugoteko olwa batembeyi okugobwa ku ngudo ne ttakisi ezibadde zitikira ku nguudo okuddizibwayo mu paaka enkadde , empya ne Usafi.