Amawulire

KCCA etandise kaweefube w’okuwandiisa aba booda booda.

Ekitongole ekikulembera ekibuga Kampala ki KCCA kitandise kaweefube w’okuwandiisa aba booda booda mu Kampala n’emirilaano okusobola okubalambika obulungi n’okubateekerateekera.

Amyuka Ssenkulu w’ekibuga Kampala, David Luyimbaazi agamba nti enteekateeka eyasooka yagaana okuvaamu  ebibala kwekusalawo bagizze mu kitongole kino.

Okuwandiika kuno kugenda kumala ennaku  14 era nga kwakukomekkerezebwa nga 1 omwezi ogujja olwo abasuubira obutewandiisa nebalabulwa okwetegula ekibuga nga bukyali.

Wabula aba booda booda tebajjumbidde nteekateeka eno bulungi nga ebifo ebisinga  bibadde bikalu.

Ebifo nga ekisaawe kya Old Kampala,  Divizoni ye Nakawa, ku kisaawe ky’ e Makerere newalala nga tewali muntu yenna awandiika newankubadde awandiikibwa.

Mubifo ebimu abagoba ba booda babadde bamuswaba era ababaddewo beemulugunyiza olw’okulangirira okubawandiika kyokka ababawandiika nebatalabikako.

Ebimu kubisaanyizo byokwewandiisa kwekubeera ne Logo Book kwebaagulira piki piki zabwe, endagamuntu, ebbaluwa ya ssentebe wekyalo, ebbaluwa eva ewakulira ebyokwerinda ku ku muluka.

Wabula abamu ku bakulembeze mu boda boda bagamba bannabwe bangi bandirekebwa ebbali kubanga ebisinga ku  bino tebabirina wadde nga beetegefu okubalibwa.

Bano era bakukkulumidde gavumenti olwenteekateeka zaayo ezekibwatukira yensinga lwaki bangi tebagenze kwewandiika kubanga tebalina kyebamanyi.

Ku mulundi guno KCCA egamba okuwandiika kwa bwerere okwawukana nebwegubadde ku Ggombolola gyebabadde baggyibwako emitwalo 65,000.

Abagoba ba bodaboda bemulugunyizza ku ngeri gavumnenti gyemala galeeta nteekateeka zetamala kwekenneenya olwo nabo nezibakwasa kanzunzu ate nga tebamala kwebuuzibwako bino byonna nga bikolebwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top