Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka COSASE basobeddwa oluvannyuma lwa KCCA n’omubazi w’ebitabo bya gavumenti okulemererwa okukkaanya ku ssente entuufu KCCA ze yasaasaanya mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/22.
Lipooti y’omubazi w’ebitabo bya gavumenti eraga nti KCCA yasaasaanya obuwumbi 3 n’obukadde 700 okugula ambyulensi 7 ne pikipiki 5.
Ate yo KCCA egamba nti yakozesa akawumbi kamu n’obukadde 600 okugula Ambyulensi zino ne pikipiki.
Ssente endala eziriko obutakkaanya ze zaagula ebibajje okuli entebe (desk) 5, emmeeza 14, n’entebe eza wofiisi 39, nga lipooti y’omubazi w’ebitabo bya gavumenti eraga nti KCCA yakozesa obuwumbi bubiri n’obukadde 140 okugula ebibajje bino, ekintu KCCA kye yegaana ng’egamba nti yakozesa obukadde 132 bwokka.
Oluvanyuma omubazi w’ebitabo bya gavumenti ategeezezza ababaka nti yatudde ne KCCA ne babaako enzikiriziganya ze baatuuseeko era n’akizuula nti baasaasaanya akawumbi kamu n’obukadde 300 okugula ebibajje bino so si buwumbi bubiri nga bwe kiri mu lipooti.
Bino byongedde kutabula babaka, kubanga akulira KCCA Dorothy Kisaka yeegaanyi nti talina lukiiko lwe yatuddemu na mubazi wa bitabo bya gavumenti era bo bakyalemedde ku bukadde 132 ze baasaasaanya.
Ssentebe w’akakiiko kano, Joel Ssenyonyi (Nakawa West) kuno kwasinzidde okulagira KCCA okuleeta fayiro yonna ekwata ku ngeri gye baagulamu ebintu bino, omuli ne kontulakiti ze baassaako omukono ne kkampuni ze baawa tenda okubagulira ebibajje ne ambyulensi kibayambe okuzuula ekituufu.
Akakiiko kakyagenda mu maaso n’okwekeneenya lipooti y’omubazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2021/2022 era nga mu kiseera kino kali ku nsaasaanya ya KCCA.