Kkooti Ensukkulumu mu Kenya ku Mmande yanywezezza William Samoei Ruto ku bwapulezidenti oluvannyuma lw’okugoba emisango 7 egibadde givunaanibwa nga Raila Odinga n’abalala bagamba nti yalangirirwa mu bukyamu.
Kino kitegeeza nti Ruto asigaza kimu kya kulayizibwa ku bwapulezidenti bwa Kenya olwo atandike emirimu mu butongole.
“Tulangirira nti okulondebwa kw’ omuwawaabirwa Asooka kwali kutuufu,” Ssaabalamuzi Martha Koome bw’ategeezezza ku ssaawa 7 : 34 eza leero.
Kino kiddiridde Ssentebe w’ Akakiiko ka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) mu Kenya, Wafula Chebukati, nga August 15, 2022, okulangirira William Ruto eyafuna obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku bwapulezidenti.
Wano munne bwebaali bavuganya Raila Odinga n’omukago gwe ogwa Azimio La Umoja abafuna obululu 6,942,930 by’ ebitundu 48 ku buli 100 baddukira mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Ruto.
Bw’abadde awa ensala, Ssaabalamuzi Martha Koome agamba nti abawaabi balemeddwa okuleeta obujulizi obulaga nti akalulu kano kaalimu okubbira nga keetaaga okusazibwamu.
Ono annyonnyodde nti abawaabi balemeddwa okuleeta obujulizi obukakasa nti waliwo okuyingirira omutimbagano okwali kuteekebwa obululu nga bwebaali bategeezezza mu mpaaba yabwe.
“Tewaliwo kunnyonyola kumala kulaga butakwatagana mu muwendo gw’obululu obwalondebwa kubwa Pulezidenti n’obululu obwalondebwa ku bifo ebirala nga omuwaabi bw’agamba,” Ssaabalamuzi Koome.
Ono era akakasizza nti obuyinza bw’okwekeneenya n’okugatta ebivudde mu kulonda si bwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda wabula bwaba Kaminsona era bakaminsona 4 era ebyaleeteddwa mu kkooti biraga nti benyigiramu butereevu.