Amawulire

Kiki Ddala Banaddini Kyebakima Mu Basamize? Ddala Kituufu waliwo amanyi gebakimayo?

Kiki Ddala Banaddini Kyebakima Mu Basamize?

Oluvanyuma  lw’omulabirizi mukkani  ya  uganda  lubogo  okulabikirako  mu  bifo bya basamize n’e mikolo gyabassamize   emirundi  egiwerako  nga  nolukyasembyeyo  yalabikako  ku  mukola  gwabasamize  e  bujjagali  abasamize  bwebali  bajjaguza  olwokutuza  NABAMBA BUJJAGALI owa 40  ,  kyaletawo  okwebuza  ebibuzo  ebiwerako era  nga  bangi  nabulikati  kikyabogeza  obwama.

sabakabona jjumba omu kubakulira enzikiriza y’ekinansi
Omulabirizi Elia Paul Luzinda amweganye.

Omulabirizi mu kkanisa ya uganda eyawumula Elia Paul Luzinda yesamudde lubogo okuba omulabirizi mu kkanisa ya uganda nategeza nti ono okuva lweyalemwa okutuzibwa ng’omulabirizi yasalawo okwekutula ku kkanisa ya uģanda natandiikawo ekiddinidini kye luzinda era ategezeza nga bwewatali mugoberezi wa kurisito  naddala Ali kuddala ly’omulabirizi ayinza kwetaba mu bikujjuko bifanaganako bwebityo.

Luzinda agamba wabula ku mulembe guno bangi bavuddeyo nebetuma ebitibwa ebyenjawulo abalala nebatuka ookweyita a alabirira, abasumba, bannabi nga n’abalala batuse kweyita katonda .

Ono ayongeddeko nti munaddini ayinza okugenda mu basamize nekigendererwa ekyokubalokola. Luzinda ayongedeko nti bweyali omulabirizi yafubannyo okukyusa nokugoba obusamize era yalumbako n’embuga y’0musamize ku mugga ssezibwa wabula teyalina manyi geyali anonyayo, akinoganya nti kibi okugendayo novayo ng’sabanye ezambi.

Omulabirizi Michel Kyazze agamba nti babawayiriza.

Omulabirizi mu kkanisa ya balokole michel kyazze ategezeza nga bwewati nkolagana wakati wa basamize nabanaddini era nategeza nti bwewabawo munaddini yenna akolagana n’abasamize agibweyo mulwatu tuve mungambo nokutebereza ebitaliko mutwe namagulu.

Ssabakiriza abawakanyiza .

Ssabakiriza w’enzikiriza y’obuwanggwa n’ennon era omusamize ategezeza

Bannadiini bwebeyunira ebifo byabasawo bekkinansi nga bagendayo kunsonga eziwerako omuli okusaba okulinyisibwa amaddala gamba abadde omusumba okufulibwa kanoni, ssaabadinkoni, venalebo ,omulabirizi n’ebifo ebirala mukanisa nga kwotadde nokutekebwa mu bifo ebisava, okusaba omukisa obubo okujjula naddala mu biseera byenaku nkulu oluberako abantu abangi.

Mutyaba era ategezeza nga bannadini abamu baberako n’ensonga z’obuwanghwa bwewabwe gyebazalibwa “( empewo z’ebika zibabanja) badukirayo okubataasa

Ono bwabuziddwa ebiseera lwebabetanira ategezeza nga bwe babeyunira ennyo mu matumbi budde ng’ensi yebase.

Ono awakanyiza omulabirizi Michel kyazze ategezeza nga bwewatali bannaddini bagenfayo nategeza ng’ abagendayo munkola yakyama era bo bakola omulimu gw’obusawo kibakakatako okuuma ebyama byabalwadde wabula nategeza nti ekyokunyikira okubegana ne befula Kani ayekima ebyamagero mu saabo kyoka natendereza kanisa nabo sibakusirika busirisi bakubinikibwa musimbi.

Mumbera yemu ono yategezeza ng ‘abagenda mu masabo bwebatalina musango era yabayise bamanyi abategera obuwanggwa bwabwe, ayogendeko nti yesu bweyazalibwa mu kiralo baddayo okunonya omwana azaliddwa  nga talabika bagenda wa mukyala omulaguzi yeyabalagula nabategeza nti bagende webanasanga omwezi baddeyo bamutegeze era bwebadayo nabawa ensano y’omugavu n’ akabani .

Bwatyo mutyaba bweyategezeza

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top