Mu mukko ggwafe guno gwe ebyobubulamu Ssekanolya ekuletede omusawo omukugu mudagala lye lyo butonde okudamu ebibuzo byobadde webuzza kundwadde ezenjawulo. Dr. Denis Mulema omusawo okuva mu JJ&J herbal research center eMukono nga ono alina obumanyilivu mukunjanjaba eddwadde ezilemye nga ajanjabisa eddala lya jjaja olwalero aze okudamu ebimu kubibuzo kubulwadde obusinze okwelisa enkuli mu basajja abakulilidde mumyaaka obwa prostate cancer.
Kibuuzo?
kiki ekileeta obulwadde bwa prostate cancer
Dr. Mulema
Buno nabwo bulwadde bwa kikaba oba” infection” obuletebwa obuwuka obusilikitu obuyingira mukutu ogufulumya omusulo nga bulekamu amabwa paka ku prostate glands ekisobola okuvirako obuzibu. Obulwadde buno bukwata nga infection kyoka bwotabujanjaba mangu bugenda bugaziwa
Kibuuzo?
Obulwadde buno businga kkosa bantu ba myaka ki?
Dr. Mulema
Obulwadde buno businga kukosa bantu bakuzemu mukyaka olwokuba emibili gyabwe gibeera ginafuye wabula ekyewunyisa nti nesangi zino bulabikidenyo ne mubavubuka nabaana abaato nga abavubuka balwala kyebayita prostaits nga funa okukalubilizibwa mukufuwisa, abamu nga fuwisa musayi na amasira.
Kibuuzo
Dr. olowoozza kiki ekivirideko obulwadde buno okusasana mubasajja?
Dr. Mulema
Abantu bangi tebafaayo kwekebezza buli muntu yandibadde yekebezza wadde nga simulwadde namanya bwayimilide kubanga mugenda okwekebezza nga ekiwundu kyasamba dda edagala.
Abavubuka okwematizza, abavubuka bangi ebyabakyaala mwabivaako mbu temwagala kusasanya nemusalawo okwematizza naye kino kibi kiletera emisiwa okugaziwa.
Ekibuuzo?
Ekilwadde kino kilina obubonero omuntu kwayinzza okumanyila nti akifunye?
Dr. Mulema.
Ekisokera ddala ye mussajja okuggwamu amanyi ge’kisajja nobera nga tokyasobola kuvuga lugendo no olumalako, abamu okufuwisa omusulo negutagwaayoolusi nga ofuna obulumi nga ofuwisa , abamu okufuyisa omusula nga tegugenda wala ogenda okumaliliza okufuka nga engato zitobye . ekilala okufuna okulumizibwa mundila, mukiwatto ne mumugongo okugendera ddala paka nemugumba lyo omukisambi