KIRUNDA FARUK: Akubiriza Abalonzi Obutalonda Muyaga Mukalulu Ka 2026
NGA AKALULU KA 2026 kabindabinda era nga nga abantu bangi bakesunze era nga batandise okwesowolayo okulaga obwagazi bw’okuvuganya kubifo ebyenjawulo wabula ekyenaku abasinga batunulidde ssente n’okukola obugaga nga balowooza nti mu offiisi ze bagala okulonddebwamu ssente zirieyo nnyinga bagenda kuyoolabuyoozi nebatakimanya nti obukulembeze bubeera buwereza n’okusitula embeera zabantu b’awangaliramu .
Abalonzi nabo bakitegera ntino banabyabufuzi abesimbawo kubifo ebyenjawulo eby’obukulembeze babeera bagala kukyusa bulamu bwabwe nga abantu nga eno y’ensonga lwaki okubalonda babatekako akazito kokubawa ssente n’okubakolera ebintu ebibawewulako mu nsasanya yabwe ng’okukitukiriza abesimbyewo bamaliriza batuunze ebyabye n’okulya amabanja okusobola okusanyusa abalonzi okubalonda mubifo ebyo nga tebamanyi nti obukulembeze bubeera buwereza wabula sikukola magoba nga bwekibeera mubizinensi.
ABAKULEMBEZE ABAKOZI B’ENSIMBI MWEDDEKO
Abakulembezze abalondondebwa nga batunulidde ssente be bennyigidde mubikolwa nga eby’okulya enguzi olw’okusomozebwa kwebasanze nga omusaala ogubasasulwa bulimwezi n’obusiimo obugenderako tebusobola kubabezawo n’okuzza ssente zebateeka mukalulu nga n’olumu kibaleetera n’okwekweka abalonzi nga tebagala kubalabako nga batya nti bagenda kubasaba sente ze batalina ate nga n’okubatomeza babatomeza
ABA NRM BALINA OKUSOMOZEBWA
Okusoomoza okusinga kubeera kubakulembeze abawangulira ku tiketi ya NRM ekiibina ekiri mubuyinza eno abalonzi balowoza nti bali mugavumenti balina okubatuusako obuweereza bwonna bwebetaga ng’amagezi gembawa kwekunyonyola abalonzi nti obuweereza bwebagala gavumenti ya pulezidenti Museveni ebukolako baleme kufananako nga banabwe abekibiina kya NUP abalira mukavuyo k’omuyaga gw’ebyobufuzi mu 2021 ng’abalonzi kyebabagambye kubanga nabo baalondebwa tebetegese