Amawulire

KIRUNDA FARUK AWABUDDE KUNGUZI ERI ABAKULEMBEZZE EWA M7

KIRUNDA FARUK AWABUDDE KUNGUZI ERI ABAKULEMBEZZE
Abakulembeze muve mukulya enguzi tuyambe muzeeyi okulwanyisa obwavu mubantu. Abakulembeza bangi ku mitendera egyenjawulo gyonna abatwala okusaba kwabwe eri omukulembeze we gwanga yoweri kaguta Museveni kunsonga ezenjawulowabula ate Bbo nebekusa bokka era newa bawa omukisa okumusisinkana tebakozesa kakisaako okubaako kyebamuyigirako basobole okusitula embeera z’abantu be bakulembera mubitundu byabwe nadala okulwanyisa obwavu
Faruk era yeewunyanyo nti abamu Museveni abawa omukisa nabasisinkanira kufaamu ze nga e Gomba, Rwakitula, kawumu nga asooka nakubasomesa kungeri gyakozesaffaamu ze okulwanyisa obwavu mu bamulirwana be wabula abasing ebiroowozo byonna babeera babitadde walala era akafubo oluggwa , okunywa n’okulya n’okwekubya ebifananyi ne pulesident byonna bye boogeddeko nga babireka awo nga baddayo mubantu baabwe nga tebalina kye babatwalidde.
Ebiwandiiko weebiri n’obujulirizi nga bamulirwana ba pulizident ku ffamu ye e kisozi nga banyonyola engeri gyeyabasomesa n’okubawagira okwenyigira mu mirimu egireeta sente mu maka gabwe mu kifo kyokudda mu kumusabiriza . kati buli lwagendayo bamutwalira kubibala n’emmere bye babera baggye mu makungula ekiraga nti enkulakulana weeri mubantu.
AB’ EBUSOGA BADDA MU KWERUMALUMA NE BEESUBYA ETTU LYA MUSEVENI
Enkola yokuyamba abantu abamwetolodde teyagikomya Gomba , yagezaako nga bwasobola okuyamba abasoga b’e mayuge abaliranye amaka g’obwa pulezidenti okubasomesa n’okubawa entandikwa okusituula embeera zabwe ne badda mukwerwanyalwanya emivuyo ne gitiisa pulezidenti n’asooka abaleka nga bwayamba abo abetegese . Emayuge nneewunya okulaba abakulembeze okuli n’ababaka bapalamenti bakansala nga basiramu nga balwanira embizzi, ente, embuzi, ng’abazitwaala newaka webalina okuzilundira tebazituusa bazitundira kumotoka ekintu ekyenaku enyo kubanga bebalina okulaga abantu bebakulembera ekuokukola nga balunda ebisoro ebyo ebibawereddwa pulesidenti okukyusa embeera zabwe mukifo kyokubitunda nebabilyamu ssente ez’amangu
LWAKI BAMINISITA BAYIYEEYO NNYO PULEZIDENT MUSEVENI
Faruk ayongerako nti ekikwasisa ennaku nti pulezidenti Museveni alina baminisita 80, abeesobola obulungi nga bafuna omusala n’ensako ebisava bye basobola okukozesa okutandikawo ffamu ez’omulembe ze basobola okukozesa okusomesezako abantu babwe n’okubayambako okufuna entandikwa okusobola okufuna entandikwa saako n’okulwanyisa obwavu ekintu kyebatakoze wadde nga balina n’emikwano gyabantu abaggaga munda muggwanga ne wabweru walyo abeteegefu okubawagira naye olwo kweyagaliza basalawo obutabakozesa. Pulezidenti Museveni agezezako okukozesa ba minisita wamu nabakulembeza mumiterendera eggyenjawulo nga ababaka bapalamenti, bassentebe bazidisilikiti okulwanyisa obwavu nga waliwo bweyawa abakulembeze mubusoga buli omu ente 4 okutandikirako wabula abasing bazirya saako n’okuzitunda nga kati batya n’okutunula pulezidenti mumaaso nga baloowoza nti agenda kuzibabuza
Puulezidenti agezezako okuteekawo enkola ya emyooga, parish development modal, okusobola okulwanyisa obwavu naye byonna olutalo abakulembeeze balulekedde yeyeka ekintu ekikyamu
Emboozi eno enkungganyiziddwa kirunda Faruk era munamawulire era omwogezi obwa Yoweri Kaguta Museveni

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top