KIRUNDA FARUK: Paalamenti Ya Bungereza Yotomedde Okukozesa Ssenyonyi Okukyusa Gav’t
Uganda ne bungereza bonna beegatira mumukago gwa common wealth ogugata amawanga agaliko muluse lwabungereza osanga kino kyekyaleetedde paalamenti ya bungereza okumala akaseera nga ekubaganya ebirowoozo ku bigenda mumaaso mu Uganda naddala ku tteeka ly’ebisiyaga. Omu kubateesa, lord Michael Cashman yatadde gavumenti ye kuninga enyonyole w’etuuse kunteekateeka zokubonereza banayuganda sekinomu ne gavumenti olw’etteeka lino ng’ono yawagiddwa ababaka bangi. Omubaka lord Belligham yatendereza nnyo joel ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu palamenti yayuganda gweyayogeddeko nga munabyabufuzi akyali omuvubuka enyo nga gavumenti yabungereza erina okukwatagana naye okulwanyisa etteeka ly’ebisiyaga n’okukyusa gavumenti mu Uganda. Nebazannyo gavument ye bungereza olw’okugoberera ebigenda mumaaso mu yuganda wabula balina okukimanya nti etteeka lyebatwala nga eky’obulabe lyawagirwa banayuganda bonna, ababaka bonna bawebwa omukisa okulikubaganyako ebirowoozo byabwe neliyisibwa mulwatu nga tewali kwekweka kwonna nga y’ensonga lwaki ne kkooti etaputa ssemateeka yalikakasizza abataliwagira bwe baggula emisango ku ssaabawolereza wa gavumenti
EBIBUUZO BINGI KU BAVUGA EMPANKA ANSA NTONO
Katukkirize nti etteka palamenti lye yayisa kkambwe nyo nga paalamenti y’Ebungereza bwegezako okulaga ensi ekibuuzo ekinene bukya liyisibwa bannayuganda bameka abakoleddwako obulabe olw’okubeera abasiyazi n’okuttibwa ne battibwa nze mbeera muyuganda wabula silabangako muntu yerangirira nti musiyazi atulugunyizibwa nga abangereza bwebatendereza
ABEYITA ABASIYAZI BABEERA BABAZAKI
Abangereza balina okukimanya nti abamu ababatwalira amawulire nti basiyazi batulugunyizibwa mu yuganda babeera benonyeza byabwe naddala okuweebwa olukusa okuberako mumawanga gabwe gebalowooza nti malungi nyo okusinga Uganda. Abangereza balina okukimanya nti batunulugunyizibwa olw’bisiyaga bazzi bamisangonga batya okuvunanwa e Uganda kwekwerimbiika mukusanyusa abazungu okusobola okusimattuka ate n’ekilala amateeka g’ensi yonna tegakkiriza ggwanga eddala kuyingira munsonga eggwanga eddala nga kino bungereza ky’egezako okukola bweyategezeza nga bwegenda okuwagira ssenyonyi baagala akole kki?
KIRUNDA FARUK: Paalamenti Ya Bungereza Yotomedde Okukozesa Ssenyonyi Okukyusa Gav’t
By
Posted on