Amawulire

KITALO! 6 bafiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Mbarara.

Abantu 6 bafiridde mu Kabenje  akaggudde  okulirana wooteri ya Satellite mu kabuga aka Muhanga ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Ntungamo.

Busi okuva e Rwanda namba RAD CO 798B kika Kya volcano ne bus endala okuva e Kenya eya kampuni ya Oxgyen number KCU 054L zitomereganye bwennyikubwenyi.

Akabenje Kano kaguddewo ku saawa nga 10 mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Elly Maate agamba nti baddereeva ba bus bafiriddewo mbulaga, so ng’abantu abasukka mu 30 bavuddewo ne bisago ebyamanyi ne baddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Okusinziira ku police mu bitundu ebyo abafudde tebanategerekeka mannya sso nga abagendedde ku bisago  baddusiddwa mu ddwaliro lya Lotom health centre mu town ya Muhanga.

Maate agamba nti kiteeberezebwa okuba ng’akabenje kano kavudde ku kaleenge abadde omungi, ekiviiriddeko badereva okulemererwa okulaba gyebalaga ne betoomera bwennyikubwenyi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top