Amawulire

KITALO: Abalala 10 banyuluddwa mu mataba agasazeeko Mbale

Ennyike yeyongedde mu bitundu bye Mbale, abadduukirize bwebanyuludde emirambo gy’abantu abalala 10 okuva mu mugga Nabyiyongo ogwawaguza olunaku lw’eggulo nekireetawo amataba mu kitundu kino nga byonna byavudde ku nkuba etonnya obutakya.

Omwogezi w’ekitongole ki  Uganda Red Cross Society  yakakasizza bino nategeeza nti embeera mbi nnyo mu bitundu bye Namatala, omugga Namatsi n’ebitundu bya Elgon ebirala kuba amazzi gayanjadde.

“Ennyumba ne mmotoka byabuliddemu, ennimiro n’ebirime byonna nebitwalibwa, ttiimu yaffe egezaako okukwatagana nabakwatibwako nga poliisi okusobola okuwa abantu bano obuyambi obwamangu,” Nakasiita bw’agambye .

Abantu ab’enjawulo abasobola okudduukirira embeera eno basabiddwa okuyambako mu ngeri yonna esoboka kuba abakoseddwa abamu tebamanyi kiddako mu bulamu bwabwe.

Webwazibidde eggulo nga abantu abawera 7 bebamaze okukakasibwa okufiira kabenje kano nga basatu babadde Mbale ate 4 babadde mu disitulikiti ye Kapchorwa.

Olunaku lw’eggulo, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yakulembeddemu Minisitule y’ebiggwa tebiraze nebagenda e Mbale okulaba bwebasobola okutaasa ku mbeera eriyo.

“Nga gavumenti tunnyolerwa wamu nabantu ba Mbale City awamu n’ekitundu kye Mbale kyonna olw’okufiirwa abantu, ebintu byabwe awamu  nokusengulwa mu maka gaabwe,” Ssaabaminisita Nabbanja bwe yagambye.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top