Abantu 5 bonna nga bamunju emu basirikkidde mu nabbambula w’omuliro akutte enju yabwe, mu Yoka Zone e Namuwongo mu Gombolola ye Makindye mu kibuga Kampala.
Omuliro guno gukutte mu kiro ekikeseza olwaleero saawa nga 8, bonna ababadde munyumba tewali asimattuse.
Abafudde kuliko Stone Luyomba nga ye ssemaka, mukyala we Nafula Doreen ow’emyaka 35, ate abaana abafudde kuliko Lubega Sumei ow’emyaka16, Naiga Edith ow’emyaka 15 ne Andrew ow’emyaka 7.
Amyuka omwogezi wa Police mu Kampala némiriraano Luke Oweyesigire agambye nti emirambo gigiddwayo negitwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa, nokwongera okunoonyereza.
Oweyesigire agamba nti bakitegeddeko nti omuliro guno gwatandikidde mu nju ya muliraanwa Charles Ogola, agambibwa okuba nti yalese omusubbaawa munju ye nga gwaka bweyabadde agenda okukola ekiro, olwo negusaasaanira enju ya Luyomba.
Omuliro guno gujidde mu kiseera nga abaana 11 kyebagye bafiire mu muliro ogwákwata esomero lya salaama school of the Blind e Mukono nga nókutuusa kati police ekyanonyereza ekyavaako omuliro.