Amawulire

Kitalo! Abantu 9 bafiiridde mu kabenje ku lw’e Masaka .

Abantu 9 bakakasiddwa nti bafiiridde mu kabenje ka mmotoka, n’abalala 12 baddusiddwa mu ddwaliro e Masaka nga bali mu mbeera mbi, lukululana No. RAF 168S/RL1426 kika kya Mercedes Benzi Actros bweyabise omupiira netomera zinewaazo nezikasuka mu luwonko.

Akabenje kagudde mu mugga gwa Kyoja mu kkoona eddene ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kinoni.

Emmotoka ezitomeddwa kuliko taxi kika kya Drone UBJ 084N n’endala eya buyonjo UAP126 A.

Omu ku batuuze abeerabiddeko n’agage Haji Ali Kiyimba owe Masaka, agambye nti mmotoka eno lukululana ebadde ewenyuuka buweewo, bweyabise omupiira neremerera omugoba waayo nesaabala emmotoka endala.

Ambulance zituuse mangu okuddusa abakoseddwa mu ddwaliro, so nga ne Police etandikiddewo okunoonyereza ku kivuddeko akabenje kano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top