Amawulire

KITALO! Abayizi 11 bafiiridde mu muliro e Mukono .

Poliisi etandise okunoonyereza ku nsibuko y’omuliro ogwakutte ekisulo ky’ essomero lya Salaama School for the blind e Mukono negutta abayizi abawera 11 balamba.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Luke Owoyesigire agamba nti omuliro guno gwabaddewo ku ssaawa 7 ez’ekiro ku kyalo Luga e Ntanzi mu ttawuni kkanso ya Ntenjeru Kisoga.

“ Ensibuko y’omuliro guno tenamanyika naye abaana abafudde bawera 11 ate abalala 6 bali mu mbeera mbi era bajjanjabwa mu ddwaliro lya Herona e Kisoga,” Owoyesigire bw’ annyonnyodde.

Bino webijjidde nga omuliro mu masomero gugenda gweyongera , okusinziira ku Alipoota ya poliisi ey’omwaka 2021 ku buzzi bw’emisango,  omuliro ogwakolebwako mu 2021 gwali 1,258  ate mu 2020 bwaali 10,15 ekiraga okweyongera n’ebitundu 23.9 ku  buli 100.

Poliisi ennyonnyola nti ekizibu okusinga kiva ku butafaayo, amasanyalaze okucankalana, sigiri awamu ne kkando ezimala galekebwa awo.

Wabula poliisi byekyasembyeyo okuzuula ku muliro oguli mu masomero biraga nti guno gubeera gutegekebwa abantu abalina ebigendererwa ebikyamu.

Akulira okulwanyisa omuliro mu poliisi,  AIGP Joseph  Mugisa yalaga obutali bumativu ku nsonga z’omuliro mu masomero nagamba nti wadde gavumenti eragidde amasomero okubaako byebateekawo okwetangira omuliro naye abakulu b’amasomero bino tebabitwala nga kikulu.

Mu bimu omwalimu okwewala omujjuzo mu bisulo,  okwewala obutapanga butanda kusukka bubiri, okuteeka kkamera ku bikomera by’amasomero awamu n okukebera abayizi entakera okuzuula ebyo byonna ebiyinza okweyambisibwa okukuma omuliro.

kinajjukirwa nti aba kampuni ya Vivo Energy bakwatagana ne poliisi nebatalaaga amasomero nga babangula abayizi n’abasomesa ku ngeri gyebasobola okulwanyisamu omuliro  awamu n’okumalawo omuze guno mu baana.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top