Amawulire

KITALO! Bishop Erasmus Wandera afudde.

Eyali omusumba w’essaza lya Eklezia Katolika erye  Soroti Rt. Rev.Erasmus Desderius Wandera avudde mu bulamu bwensi eno.

Okusinziira ku bubaka obuvudde ku kitebe ky’Abepisikoopi ki Uganda Epscopal Conference ekisangibwa e Nsambya, Omusumba Rt. Rev.Erasmus Desderius Wandera afiiridde mu makaage e Mbale obudde bwebubadde busaasaana enkya yaleero.

Omusumba Erasmus Desderius Wandera yalondebwa ng’omusumba wessaza lya Ekelezia Katolika erye Soroti ng’ennaku z’omwezi 29.11.1980 naatuzibwa ng’omusumba ng’ennaku z’omwezi 29.03.1981 okutuuka mu mwaka 2007 bweyawummula.

Omusumba Emmanuel Obbo yeyamuddira mu bigere, wabula kati ye  Ssaabasumba w’esssaza ekkulu erye Tororo.

Omusumba Rt. Rev.Erasmus Desderius Wandera omutonzi gwajjuludde, yaazaalibwa ng’ennaku zomwezi 16. 04.1930 mu kitundu kye Osia mu district ye Tororo mu ssaza ekkulu erye Tororo, era waafiiridde ng’aweza emyaka 92

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top