Amawulire

Kitalo! Dokita afudde ekirwadde kya Ebola e Mubende.

Entiisa yeyongedde mu disitulikiti ye Mubende olw’ ekirwadde  ky’ Ebola ekifuuse ekizibu buli lukya, nga waliwo n’omusawo omulala omutendeke  gwekisse.

Omugenzi ye Dr Grace Walugembe nga yabadde akola mu Kkeberero ly’ endwadde ku ddwaliro ekkulu e Mubende era nannyini kalwaliro ka Life Care Medical Clinic akasangibwa e Kirungi South Divizoni mu Mubende.

Okusinziira ku b’obuyinza e Mubende kino kirinyisizza omuwendo gw’abasawo abaakafa ekirwadde kino nebatuuka ku bataano balamba.

Omubaka wa Pulezidenti e Mubende, Rosemary Byabashaija yakakasizza okufa kwa Dr Walugembe gwayogeddeko nga abadde empagi luwaga mu by’obulamu mukitundu kino.

Byabashaija wiiki ewedde yavaayo nakakasa nga bweyali asindise abasawo abakugu abakola ku kulwanyisa ekirwadde kino ku kalwaliro ka Dr Walugembe oluvannyuma lw’okukizuula nti yali akoze ku mukazi eyalina obubonero bwa Ebola  oluvannyuma eyafa, era abakugu bamuggyawo nebamwawula era nekizuuka nti naye yali akwatiddwa ekirwadde kino.

Dr Walugembe waafiiridde nga alimukufuna bujjanjabi ku ddwaliro ekkulu e Mubende.

Bino webijjidde nga abantu 2 bebafudde ekirwadde kino mu ssaawa 24 eziyise nga bonna be Kassanda. Waliwo n’abalala 5 abasuuse ekirwadde kino era kati abaakakisimatuka baweze 40 balamba.

Waliwo n’abantu abalala abawera 1,656 abagambibwa okubeerako n’abazuulibwamu ekirwadde kino mu disitulikiti 10 abanoonyezebwa okusobola okutangira obulungi ekirwadde kino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top