Amawulire

Kitalo! Hajji Nsereko Mutumba afudde.

Abadde omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti ye Kayunga (RDC), Hajji Nsereko Mutumba afudde.

Mutumba yayatiikirira nnyo mu kiseera kyeyamala nga ye mwogezi w’ekitebe ky’Obusiraamu ekya Kampala Mukadde gyeyava mu mwaka gwa 2020 oluvannyuma lw’endagaano ye okuggwako.

Nsereko afiiridde mu ddwaliro e Lubaga wadde ekivuddeko okufa kwe tekimanyika.

Ono waafiiridde nga ali mu myaka 60 era abadde kyaggye alondebwe ku bwa RDC bwe Kayunga mu mwezi gwa March omwaka guno.

Hajji Nsereko y’omu ku beetaba mu lusirika lwaba RDC olwabaddewo ku nkomerero y’omwezi oguwedde e Kyankwanzi era okusinziira ku baali naye bagamba nti yalabika nga taliko wamuluma.

Amyuka RDC w’e Gomba, Joshua Kasoma Zaake ategeezezza nti lino eddibu ddene eri eggwanga kuba omugenzi abadde asuubirwamu bingi naddala mu buweereza bwe obupya nga RDC.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top