MASAKA: OBUNKENKE bweyongedde mubendobendo lye Masaka olwakabinja kyabantu abatanaba kwatibwa abatandise okusula ebipapula nokuwandika enkalala zamanya gabagagga bebagala babawe ssente bwebanabera babatuseko essawa yona okusobola okulaba nga bamalirizza emirimu gyabwe ngera bawandise nolukalala lwabavubuka bebagala babegateko mubunambiro.
SSEKANOLYA akoze okunonyerezza nazula ezimu kunsonga lwaki obubinja bwabatematema bannaMasaka nokusasanira mubitundu byeggwanga ebyenjawulo basoka kwetanira mubyalo nebalyoka bolekera ebibuga.
OBULAGAJAVU
Kigambibwa bakijambiya bano bagala nny’okutandikira mu byalo kubanga ebyokwerinda byayo sibyamanyi nnyo bwogerageranya nebera mubiguga ngera bakozesa omukisa gun’okulumba abantu bebabera bamanyi nti balina abantu babwe mubibuga oba olyawo nabo ababera bakola mubitongol’ebyenjawulo.
BASULA BIKIRO KITWALA OMUNAKU
Akabinja kabantu abeyise abayekera batandise okusula ebibaluwa ebyakazibwako kiro kitwala omunaku nga biwandikiddwa mu langi emyufu ngera oyinza nokulowozza nti omwana owa P.1yeyawandise olwokuba ebigambo ebimu byabadde tebisomeka bulungi nganamanya nag’olwana ogasoma.
Okusinzira kubibaluwa SSEKANOLYA byeyalabyeko bataddeko amanya gabagagga abamu okwabadde Kyobe,Kasujja,Kasule nabalala nga bano buli omu bamwetazamu obukadde obuli wakati wobutaano nakamu ngatebagala bawolezza kigambo nakimu kasita banabera ngababatuseko essawa yona okusobola okulaba ngabamalirizza ekigendererwa kyabwe.
BAGALA EKIBINJA KYABAVUBUKA OKUBEGATAKO
Abakambwe bano bawandise namanya gabavubuka bebagala babegateko bunambiro kubanga balaba ngabalin’amanyi nganebwebabera babasindis’ewantu babera babatisa amaaso.Era kubano abavubuka kuliko,Alexa,Jose, Kyeswanabalala.
BAGALA MMUNDU BIRI OKUVA EWA OC
Bakanywa musaayi bano okumanya tebasaga basabye oc wa Misanvu IP Maurice Abongo abafunireyo emmundu biri basobole okulaba ngabatewali kibataganya nokulaba ngabwewaberawo abenganga ngateyetegese bamukolako bunambiro.
AKABINJA KABAFEERE
Kigambibwa wayinza okuber’akabinja kabafeere ngabebatandise okuwandika ebibaluwa bikiro kitwala omunaku ngabala kulaba bwebayinza okufuna ssente okuva mugavumenti nti banonyereza kukabinja kano.
Bawadde ekyokulabirabo mukibuga Masaka waliwo akabinja kabavubuka abawandika ebibaluwa ebimu nebabisula mumaka geyali omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi era poliisi bweyabakwatta bamala mukaddukulu kekomera lye Masaka Central Police Station wiiki nnamba babayimbula ngatebagenze namu kkooti olwokuba bwebabayita mulukiko lwebyokwerinda nebetonda nebabasonyiwa era abamu kubatuuze bagamba akabinja kabavubuka bano kayinza okuba kekali emabega webibaluwa bino.
OC AWANDA MULIRO
Wabula bino byona abebyokwerinda olwabagudde mumatu nebayita olukiko lwekyalo ngalwetabiddwa abebyokwerinda okulaba bwebayinza okwekumamu olwabakambwe bano abagala okubatematema era wano atwala poliisi ye Misanvu Maurice olwamuwadde akazindalo nakangula kuddobozi ngera obwedd’ayogera nemisuwa gimwerezza ngabwalabula abebijambiya bano nti bwebabera bajja ewuwe bajje ngabamaze okulama nokugula kkesi abantu babwe mwebanabazika kubanga abetegekedde.
SSENTEBE WA DISITULIKI AYOOGEDDE
Ssentebe wa disituliki ye Lwengo Ibrahim Kitattaagamba abatuuze okwali nabamu ngabali basirikale beggye ekuma byalo batibwa mubukambwe nganokutusa kusaawa yaleero abatemu bano tebanaba kwatibwa .Ayongeddeko nagamba bakola ekisoboka kyona okusobola okulaba nga balinya kunfete abakambwe bano nasaba nabatuuze bona okulaga obulungi nabebyokwerinda okusobola okulaba ngababakwatta babatwala mukkooti bavunanibwe nokulaba ngabawayo amanyi gabantu bebawangala nabo abakyamu kubanga ebisera ebisinga obungi abatigomya ebitundu babera baana nzalwa .
ABAKYALA TEBAKYASULA NABASAJJA ENYONTA YOMUKWANO EBATTA
Abamu kubakazi mukitundu kino bagamba tebakyala nabasajja babwe mumayumba ngera nenyonta yomukwano ejula okubatta kubanga abasajja basula munsiko nabamu basula batudde muddiru ngabalindiridde oyo yena agezak’okubayingirir’amatumbi buddekwekuwanjagira ebebyokwerinda okulaba ngabakola ekisoboka kyona okumalawo obunkenke buno kubanga abakwambwe bano babalumbako dda nebabatamu abantu babwe omwali nokungu wa poliisi omugenzi SSP Denis Ssebugwawo ngono yatibwa akabinja akali kakulirwa omugenzi Muhmad Kiddawalime ne Musa Galiwango ngaye enkuye zikyamubira endulu mukkomera gavumenti gyeyamusindika.
BAWANJAGIDDE M7 ABATASE
Abatuuze mubendobendo lino bawanjagidde omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni asitukiremu ayungule basajjabe bamutaseka ngabayambibwa abebyokwerinda byomukitundu kino ngabweyakola mukusanyawo bakijambiya abali befudde mmo mukutirimbula bannauganda kubanga embera gyebalimu tewomya nakabululu.
ABEBYOKWERINDA BALABUDDE ABATUUZE
Abebyokwerinda balabudde abatuuze bona okutwalir’awamu okubera ngabongera ebiragiro bya kayifu kino kibayambek’okusobola okwanganga abakambwe bano kubanga gwebanakwatirizza ngatayana obudde bwatalina kutambuliramu kajja mutuka nokwejusa olunaku lweyava mulubuto lwenyina.