Ssenga

Kituufu eby’okwawula ekisenge mu bafumbo abakuze mu myaka kitta amaka?

Abafumbo abamu bwebakula mu myaka egyawaggulu naddala okuva 50 n’okudda waggulu balina enkola yokwawuula ebisenge oba ebitanda nga bwekituuka ku kitanda oluva ku mulimu oba omukyala yasoose okukomawo okuteekateeka eby’okulya anaaba bulungi n’akwasaganya buli mulimu ogwetaagisa mukadde ako nga yeesogga mu kisenge kye okwebaka omusajja w’akomerawo nga akonkona ku lujji okumubuuzaako n’okumukakasa nti wali.

Wano webeesabira okwekabala bwebakiriziganya omusajja bwamaliriza by’alina okukwasaganya asooka kulabiriza ku baana oba beebase n’alyoka ayingira ng’asooba awo ne balyoka banyumya akaboozi ate bwekituuka ku by’okwawula obuliri, wano babeera basula mu kisenge kimu naye ng’ebitanda bya njawulo, byonna babikola wamu nga ne bwoba obasanze olowooza tebeeta era bano bafuba nnyo okwetigiisa okulaga nti bali wamu mu maaso g’abaana naye bwebutuuka ekiro nga buli omu akwata lirye. Ssenga Maria Nantongo ow’e Kyengera mu disitulikiti y’e wakiso omukugu mu by’ekisenge agamba nti kyandibadde kirungi abafumbo obutatengana ppaka mu kisenge okusobola okuwangaaza omukwano.

Obulabe obuli mu kwawula ekisenge n’obuliri.

Essanyu ly’amaka, agamba nti kituuka ekiseera essanyu ne liggwawo nga tekyali yeegomba munne wadde okumusikiriza.

Ennyombo: agamba nti ennyombo zituuka ne ziba nga teziggwa waka anti buli kaboozi lwekabula mu bafumbo, okuyomba kuva ku kasonga katono ekiddako kulwanagana.

Obwenzi: ayongeddeko nti buli omu abeera n’ennyonta y’omukwano engeri gye kibeera nti bibeera bya kwebba butabalaba omukisa bwegubakwata abato ne babaawo olwo akazannyo tekazannyibwa.

Emize emisiwuufu: ayongeddeko nti wano ogenda okwesanga nga buli omu afunye emize ng’egy’okwetuusa ku ntikko, okuyingiza baganzi baabwe mu nju, n’ebirala.

Ebirungi ebiri mu kwawula ekisenge.         

Empisa: Ssenga Maria agamba nti kino nakyo kirungi kukutendeka abaana empisa obutagwenyuka nga bakyali bato kuyiga bikolwa bya bukaba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top