Ssemujju ategeezezza nti abaseculite babba nnyo ssebte ng’ebiseera ebisinga abanene basirika busirisi olw’obutaswala nga n’olumu entalo z’okugabana ssente ezibeera zibbiddwa zibaleetera okwekuba amasasi nga bwe bakola ennaku zino.
Lt Gen Nalweyiso tafunyise kwanukula Ssemujju ku ngeri gye yakwatamu ensonga za ssente za mukama we Ssemujju z’agamba okubbibbwa mu ofiisi ye.
Lipooti zizze zikolebwa ku bubbi mu magye nga waliwo Capt. Byakutaaga eyabba emisaala gy’abasirikale n’afuluma eggwanga.