Omulamuzi wa kooti enkulu e mukono Henry Kaweesa akawangamudde, bwategezezza kooti nti ekitongole ekiramuzi tekirina sente kweyongerayo n’omusango oguvunanibwa eyali omusawo we Mulago Mathew Kirabo agambibwa okutta eyali muganzi we Desire Mirembe.
Omulamuzi Kaweesa era ategezezza nti, ekitongole ekiramuzi kyawa kooti eno obukadde 150 okusobola okuwulira omusango guno, era n’ebawebwa ennaku 40 okuba nga omusango guno guwedde okuwozesebwa n’okulamulwa. Omulamuzi era yategezezza nti ennaku kitongole kye zabawa zagwako dda, ne sente ezabaweebwa nazo ne zibaggwako nga kati tebalina busobozi kuwuliriza musango guno ate nga ne Kirabo talabika.
Omulamuzi era yategezezza oludda oluwabi nti yadde ng’omuwabirwa Kirabo akyaliira kunsiko, yagambye nti omusango gukyagenda mu maaso yadde nga taliiwo era nayongera okusa kuninga abo abeyimirira Kirabo okumuleeta mu kooti era n’ategeeza nga n’ekiragiro Kya kooti ekikwata Kirabo bwe kikyaliko eri buli muntu yenna amulabako.
Wabula omu kuba puliida b’omuwawabirwa Hassan Kato yemulugunyizza olw’abebyokwerinda okugenda okwaza amaka ga Kirabo nga tebamaze kutegezebwako, wabula omuwabi wa gavumenti mu musango guno Happiness Ayinebyona n’ategeeza nga bwe balina ebbaluwa okuva mu kooti ebakirizza okwaza amaka ga Kirabo nga ba puliida be tebamaze kutegezebwako.
Guno ssi gwemulundi ogusoose ekitongole ekiramuzi okutegeeza nga bwe kitalina sente kuwulira musango guno, nga ne gyebuvuddeko ssabalamuzi eyawumula yaguyimiriza n’ategeeza ng’ekitongole ekiramuzi bwe kitalina sente kuwulira musango guno. Kino kyaviirako abamu kuba famile ya mirembe okwemulugunya eri ekitongole ekiramuzi nga bategeeza nga bwe balina kyekubiira mu musango guno.
Emmanuel Musoke Ono nga ye taata wa Desire Mirembe yategezezza nti bbo nga famile basanyufu olw’obumalirivu omulamuzi beatolesezza mu musango guno, era n’ategeeza nga bwe bawandikidde Embassy ya America mu Uganda nga babategeeza mubitongole, kuba bakimanyi Kirabo ayinza okuba nga gye yekukumye, oluvannyuma lw’okuwasa munna Uganda alina n’obutuuze mu gwanga lya America.
Okusinziira ku bajulizi 13 abaletebwa mu kooti omuli abasilikale ba Poliisi abakola ku musango guno, abasawo mu dwaliro awatwalibwa Mirembe ng’amaze okuttibwa ate n’akatambi akakwatibwa Poliisi nga bamaze okukwata Kirabo era nga Naye akkirizza nti ddala yeyatta Desire mirembe, byonna bibadde bimala okusingisa Kirabo omusango, kyokka kooti yamukiriza okuwoza ng’ava bweeru, ekintu ekyamuviriddeko okudduka oluvannyuma lw’okukola embaga n’omukazi omulala.