Amawulire

Kooti zizeemu okukola oluvannyuma lw’ennaku 15.

Kkooti zonna okwetoloola eggwanga enkya ya leero ziddamu okukakkalabya emirimu, oluvannyuma lw’oluwummula olw’ennaku 15 okukommekerezebwa.

Omwezi oguwedde kkooti zaagenda muluwummula lwa nnaku 15, wabula amawandiisizo gaazo gaasigala maggule okusobozesa abantu okuloopayo emisango emiggya.

Okusinziira ku ssiga eddamuzi oluwummula lwali lugendereddwamu kuwa balamuzi mwaganya kumaliriza nókuwandiika ensala zémisango egyenjawulo.

Wabula mu luwummula luno kkooti zaasigala nga ziwuliriza emisango egya nnaggomola négyo egyetaaga obwangu nga semateeka wa kkooti bw’akirambika.

Kkooti zigenze okuva muluwummula nga zikyayina emisango egiwera egikandaaliridde nga tegiwulirwa, era gino gisukka mu mitwalo 50,000.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top