Amawulire

Kyagulanyi ayongedde okulabisa Poliisi.

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangiridde ekiddako oluvanyuma lw’ okufundikira laale mu bitundu bye Arua.

Olunnaku olw’eggulo, munnamaggye, amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Tumusime Katsigazi yayimiriza mbagirawo okutambula kwa Bobi Wine kwaliko n’ekibiina ki NUP mu ggwanga lyonna omuli n’okuggulawo offiisi mu bitundu eby’enjawulo.

Mu kiwandiiko, ekyasomeddwa omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, munnamaggye Katsigazi agamba nti Poliisi erina okukuuma abantu n’ebintu byabwe.

Agamba nti NUP ebadde asukkiridde okumenya amateeka omuli okukuma mu bantu omuliro, okutaataganya entambula z’abantu, okuvumirira emirembe, okutaataganya emirembe, okwonoona ebintu by’abantu omuli emmotoka, abantu okufa nga kivudde ku bubenje n’okufuna obuvune, okulemesa abantu okukola emirimu, okubba ebintu byabwe.

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti Bobi Wine abadde asukkiridde okweyambisa ebigambo ebiyinza okutaataganya emirembe, ebitumbula enjawukana mawanga, ekintu ekimenya amateeka.

Wabula Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okulaga nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, kyabadde mu Pulaani, okuwumula ekitundu ekisooka eky’okutambula singa bafundikira ebitundu bya Arua, “Thank you Arua! Today winds up the first phase of our”.

Ate omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Besekezi Ssenyonyi agamba nti Bobi Wine alina okugenda ebweru w’eggwanga, okwongera okunoonya obuwagizi.

Agamba nti Bobi alina okugenda e Canada era Poliisi okuvaayo okubayimiriza, tekigenda kubakosa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top