Omwana omu afiiriddewo mbulaga ate abalala ababiri bafudde baddusibwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi, oluvannyuma lwa lukululana okwabika emipiira n’ebasaabala.
Lukululana eno kika kya Seni truck fao UBH 126J / UAX 013V, ebadde eva ludda lwa Tororo ng’edda Mbale.
Abafudde ye Namugosa Shakira 9 abadde asomera ku Malukhu primary school, Wasike Jane myaka 3 n’ ekitundu, wamu ne Wasike Grace 12 babadde basomera ku Nabuyonga primary school.
Omwogezi wa police y’ebidduka Faridah Nampiima ategezezza nti omugoba w’emmotoka eyingiride abaana Lukenge Geoffrey akwatiddwa ayambeko police mu kubuuliriza ku kabenje kano.