Amawulire

Lukwago alemedde emmotoka ya M7 , agiwadde Nnaalongo.

Bino we bijjidde nga ne ba sipiika ba KCCA okuli Zahala Luyirika n’omumyuka we Nasor  masaba batadde minisita Kyofatogabye ne hajjati Minsa  Kabanda ku bunkenke nga baagala mmotoka nsajja nga loodi mmeeya Lukwago n’omyuka we Doreen Nyanjura ze batambuliramu bave mu kutambulira mu zi ganyegenya ezitasobola kuyita mu binnya bya Kampala.

Bano bagamba baayiwawo nnyo omubiri okuyisa atteeka ly’ebipande.

Lukwago agambye nti “oyo yenna eyeewulira eryanyi n’okubeera omusajja ennyo ajje mu maka gange anoneyo emmotoka, sikyayagala kunyonyola bantu abatakwata bye mbagamba.

Omwogezi wa KCCA , Simon Kasyate , agama nti ensonga y’emmotoka enkadde eyali eya Lukwago bagenda  kutuula okumanya ensonga lwaki tanagikomyawo kubanga emmotoka emkadde eyali  eya Dorothy Kisaka gye yali atambuliramu yagikomyawo mu KCCA ng’afunye  empya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top