Abebyobulamu mu ggwanga balabudde era ne bennyamira olw’omuwendo gwa bakyala abakozesa enkola ya kizaalagumba naddala mubitundu ebyomugoteko okubeera wansi .
Bino babyogeredde murusisira lwe’byobulamu olwategekeddwa mumuluka gwa Bwaise III mu zzooni ya kawogo bugalanyi ne st francis mwe baweredde abatuze obujjanjabi nga essira baasinze kulissa kundwadde ezitawanya abakyala okuli kabotongo, kkansawamabeere nowo’mumwa gwa nabaana n’enkola eya kizaazala gumba nadala mubifo byomugotteko.
Omukyala nga amaaze okuzaala
Olusiisira luno lwabaddemu abasawo okuva mu malwaliro ga gavumenti okuli : komamboga health centre III kawempe referral hospital nga begatiddwako ab’ekitongole kya agency for cooperation in reaserch and development.
Catherin Nsubuga atwala komamboga health centre III yategezeza mu malwaliro ga gavumenti babeera ne ddagala ly’enkola ya kizaalagumba nga kwebatadde n’okwebuuza kubasawo kundwadde enddala ezibatawanya ng’abakyala. Yabasabye okwetanira amalwaliro ga gavumenti kubanga mubeeramu eddagala.