Amawulire

Lwaki Among awakanyizza eby’okutemula omubaka Joel Ssenyonyi ?

omukubiriza wa Palamenti y’eggwanga era nga ye mubaka omukyala akyikirila bukedea district Rt Hon. Annet Anitah Among, awakanyiza ebyogerwa nti waliwo olukwe olw’okutemula akulira oludda oluwabula gavumenti Rt hon Joel Ssenyonyi nagamba nti bino bigambo byakwagala kusasamaza ggwanga.

Kino kidiridde omubaka wa Munisipaali ye Iganga Peter Mugema okutegeeza paalamenti leero ku Lwokusatu nga bwebasaanye okutunula mu nsonga y’ebigambibwa nti waliwo abaagala okutemula omubaka Ssenyonyi.

Eggulo ku Lwokubiri, Ssenyonyi yategeezezza bannamawulire ku kitebe ky’ ekibiina e Kamwokya nga bwafunye okutiisibwatiisibwa nga waliwo abaagala okumutta olw’okwanika obuli bw’enguzi mu bitongole ebyenjawulo nga beekwese mu kabenje naye nawera nti tagenda kupowa.

Sipiika Among bino abiwakanyizza naasaba omubaka Ssenyonyi okutegeeza Poliisi bwaba akakasa nti obulamu bwe buli mu matigga kuba okusinziira ku mbeera eriwo talaba kigendererwa wadde okubaawo obwetaavu obuyinza okuttisa omubaka yenna.

Kinajjukirwa nti Joel Ssenyonyi ayatiikiridde nnyo akaseera akayise oluvannyuma lw’okwanika obulyi bw’enguzi mu bitongole okuli Uganda Airline ne Civil Aviation Authority weyabeerera Ssentebe w’Akakiiko ka COSASE.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top