Amawulire

Lwaki Enfa ya Faaza Simon Lukodo erese ebibuuzo mu bakungu ba gavumenti

Eggwanga likubiddwa ekonde eyali minisita w’ebyempisa n’obuntu bulamu Faaza Simon Lukodo 64,  bwafiiridde mu ggwanga lya Switzerland mu kibuga Geneva

Amawuire go kufa kwe gasasanidde eggwanga ku lw’omukaga ku saawa 6 emisana.
Amyuka sipiika wa palamenti Anitah Among agambye nti eggwanga lifiriddwa omuntu abadde atasirikira nsonga gyalabye nga etwala eggwanga ewazibu avaayo nagyogerako kyokka enfa ye erese ebibuuzo kubanga abadde tatanyibwa nnnyo ndwadde   nga wafiridde eggwanga weribadde limwetagira kubanga y’omu ku banna byabuguzi abaluddewo  ababadde basobola okulungamya abato abayingidde ebyobuguzi eraeggwanga ligenda kumusubwa nnyo.
Faaza Lukodo yegase ku abadde governor  wa bbanka enkulu pulofeesa Emmanuel Mutebile naye eyafiiridde mu gwanga lya Kenya mu Nairobi hosipital.nga mu wiiki emu gavumenti efiriddwa ebikonge bibiri ebizibu okuzikawo.
 Ogyeko okubeera minisita omubeezi ow’ebyempisa Lukodo yaliko omubaka wa  Ddodoth County  ekisangibwa mu disitulikiti ye Kaabong.
Abamu kubabaka bagambye nti batabuddwa lwaki abakungu ba gavunenti n’ababaka  bafiira nnyo ebweru nebalabuka gavumenti ekole nnyo okulaba nga eteeka ebikozesebwa mu malwaliro kubanga banna Uaganda bangi tebalina ssente  zibasobozesa kuddukira wabweru wa ggwanaga okufuna obunjanjabi noolwekyo  abavunanyizibwa ku byobukamu bave mu kubalata bateeke ebikosesebwa mu malwaliro nti kigya kumalawo abakungu abadduka mu ggwanga lyabwe nebokelera ensi endala endala okujanjabibwa.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top