Ensonda mu nkambi ya Besigye zikakasizza nti Lukwago yagaanye eby’okulekera Musumba nga yatandiise enteekateeka ne Ssemujju okutandika okuyiga obuwagizi bw’okutwala bukulembeze bw’ekibiina nga baatandikidde mu kitundu kya Buganda.
Bano wiiki ewdde baabadde mu Mitiyana nga baasisinkaye abakulembeze ba FDC n’abawagizi b’ekibiina ne babakubiriza okwewala okwenyigira mu bikolwa ebiswaza ekibiina kyabwe ng’obubbi , onufere nga kino kye kigenda okubayamba okufuna obwesigwa bw’abantu babakwase obuyinza bw’eggwanga.
Ssemujju enkambi ya Besigye emuleeta kuvuganya ku bwasaabawandiisi bw’ekibiina nga bamativu nti Mafabi agenda kumeggebwa wadde enkambi ye erina omusimbi oguwera, wadde nga balinamu okutya nti Ssemujju okubeera nga bonna ba ddiini emu era bava mu kitundu ky’eggwanga ky’ekimu kiyinza okukosa obuwagizi bwabwe naddala mu bitundu ebirala.