Amawulire

Lwaki mu malwaliro temubeera ddagala?

Ekibiina ky’obwanakyewa ekitakabanira eddembe ly’obulamu ki Center for Health Human Rights and Development – Cehurd kitutte ssaabawolerezza wa government wamu n’ekitongole kya National Medical Stores mu kkooti enkulu, kibavunaana  olw’obutatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuteeka eddagala erimala mu malwaliro ga governmet.

Ekibiina kino kyagala kkooti eragire government  eteekewo enkola ennungamu, enesobozesa amalwaliro gaayo okufuna eddagala mu budde kiyambeko nokukendezza ku ddagala eryonoonekera mu malwaliro.

Nuru Nakibuuka Musisi omukungu okuva mu CEHURD agamba nti ebbula lyeddagala lino liviiriddeko abantu bangi okufuna obuzibu mu bulamu bwabwe n’oluusi okufa.

Ensangi zino eggwanga bibadde mu katubagiro ke bbula lyeddagala mu malwaliro ga government ekintu Cehurd kyegamba nti kityoobola eddembe ly’obulamu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top