Amawulire

LWAKI OMUBAKA NAMBOOZE ALEMEDDE KU BYOBUTWA-OULYANYA

Omubaka wa Mukono Municipality Hon Betty Nambooze agambye nti tagenda kutiisibwatiisa kulabula kwa gavumenti okukwaa omuntu  yenna analemera ku kwogera nti mu ggwanga lino mulimu ekiwa Bannabyabufuzi butwa ng’ebyayogeddwa kitaawe w’omugenzi Jacob Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti gye buvuddeko.

“Nze Nambooze oba bankima bankime naye twagala okumanya baani abatuwa obutwa. Gavumenti mukifo ky’okutiisatiisa  mbu ejja kutukwata yandibaddewo eteekawo akakiiko akenjawulo kuanga kituufu obutwawebuli mu ggwanga” Nambooze bwe yategeezezza ku mukolo ogwabaddeko n’Abasiraamu ea okukyasansansana ku mikutu.

Yagambye nti ye kenyini bwe  baamukwata eyali DPC w’e Mukono  Aurien yamukuba ebiyiso b’obutwa ea kyamwetaagisa abasawo abakugu okubunuunamu nga nakati essaawa yonna akeesa lukya nti ate n’eal omubaka  Hajji HUsein  Kyanjo ali ku ndiri naye akatwa bakamuwera Dubai.

Nambooze kwe kubuuza nti kati pulezidenti oba gavumenti bagaana  batya abantu okwemulugunya ku butwa obugambibwa okuwebwa abantu.

Yagambye nti Aurien ekirungi gyali mu kkomera e Luzira batandikire ku ye nti ne Kyanjo osanga  naye asobola okubaako byayogera ngamanyi ababumuwa nti okutiisa tekirina makulu.

Nambooze okuvaayo kidiridde bannabyabufuzi abawerako ne kitaawe w’omugenzo Oulanyah okulalikibwa poliisi nga bwegenda okubakwata banynyonyole ku byebasamwasamwa nabyo nti Oulanyah baamuwa butwa.

Muzeeyi Nathan Okiri kitaawe wa Olanyah yeeyasooka okutegeeza abamawulire nti  omugenzi yamutegeeza nti baamuwa obutwa era bwe bumusse.

Ebigambo bino byatambula ng’oluyiira era bannabyabufuzi okuva mu Acholi ne bakula ejjembe kyokka pulezidenti Yowri Musveni nasinziira ku mulambo gwa Oulanyah e Kololo n’alabula nti bbo nga gavumenti bamanyi kyabasawo nti omugenzi yali afudde  kansa.

Yalagira poliisi okukwata buli alokompoka n’obutwa abitebye.

Wabula mu kuziika Oulanya Okiri nabyasa buto ate oluyiira ne luddamu buto  kyokka  poliisi beyise okubitebya bawera nga ne Bobi Wine talutumidde mwana.

Ku lunaku lwokuziika, waaliwo obunkenke kibuyaga atabangawo  mu Omoro bweyasitula  weema omwali  omulambo gwa Oulanyah  ngemikolo gyomuziika gigenda mu maaso.

Ngembuyaga tenasituka obudde bwasooka kufuuka ebire ebiddugavu bwe byetimba obwengula bwa Acholi bwonna nebirekawo akatuli katono ddala  abantu weebalengereranga  ku njuba.

Wano abangu naddala abo abamanyi ebyafaayo bya Acholi webatandikira nabo okuwanuuza nti kirabika enfa yomugenzi y’alimu obwezigoolo.

Kigambibwa nti aba ffamile ya Oulanyah baludde nga bamanyi nti waliwo abagala omwana wabwe aveewo nti era bbo olwababikira ne batandika okukola emikolo gyobuwangwa omugenzi alulume era bakyalize gwgunagenda naye bwekutabe kuwonga nyo.

Nambooze weyatabukidde nga ne bannadiini omwabadde ne ssabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Bishopu Paul Ssemwogerere nabo bakasaba gavumenti ekomye okutiisatiisa abantu nga beemlugunya nti byobutwa obugambibwa okugabibwa abalala wabula ezuule ekituufu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top