Amawulire

LWAKI SSIBULI MUNTU YEETAGA OKUWA KADDI Y’EKIBIINA- FARUK KIRUNDA AWADUDDE

Abakulembeze bebiina b’ebyobufuzi mugwanga balina okuyamba abalonzi nga basunsulira ddala abantu bebakwasa kadi yekibiina okuvuganya kubifo ebyenjawulo nga balina obusobozi n’ebisanyizo by’obukulembeze wabula ssi kumala gawereza muntu olwokuba alina oluganda kumukulembeze w’ekibiina oba awaddeyo ssente okumuwa tiketi ekintu ekintu kino bwekitatunulwamu tugenda kwonona obukulembeze obukolera banayuganda n’okulwanirila enkulakulana muyuganda okusunsula omuntu awebwa tiketi ebibiina byeby’obufuzi mumawanga agakula nga America, Bungereza bwebikola. Bano batunulira ebintu bingi nga obuyigirize, okutendekebwa mubukulembeze, enkolagana n’abantu, enfuna yayagala tiketi n’ebirala bingi nga kiyamba obutatomera.
PULESIDENT MUSEVENI AYAMBIDDEDALA MUBY’OBUKULEMBEZE
Pulezident Museveni ayambiddeddala okulinnyisa omutindo muby’obukulembeze nga kyensaba palamenti kwekukola enongosereza mu tteeka lyabagala ebifo by’obukulembezze nga n’ekyokubeera n’obuyigirize obwa s.6 okulondebwa kukifo kya MP tekimala balina okwetegereza omuntu oba simumenyi wamateka kubanga abasing balondebwa bafere atenga babi babaluwa. Abalonzi nabo balinaokuvamu okukyamukirira nga balonda abakulembeze nga bwebakola mukalulu ka 2021 naddala mubuganda nebasula abakulembeze abeensa nebalonda ababasanyusa oklwokuba bamanyi okuvuma n’okuyimba nga ndowooza abasinga basasulidde ensobi zebakola nga abakulembeze bebalonda nga b’enonyeza bugagga nga eby’obuwereza bwebalina okubatuusako nga babuvaako dda bannayuganda balina okukimanya nti obukulembeeze obulungi butekebwatekebwa nategera obuvunanyizibwa obumwolekedde nga akulembeera abantu abamutekamu obwesigwa. Ebiseera ebisinga omukulembeze eyatekebwatekebwa tubalabira mubiseera by’okusomozebwa nga egwangga lifunye akatyabaga nga oyo atatekebwatekebwa akola okusalawo okukyamu okusanyusa abalonzi nga tasose kwetegereza oba okusalawo kwe mudda kugenda kuleeeta ebizibu .
PULEZIDENTI MUSEVENI ALWANYISA SIRIMU NE COVID 19.
Akawuka kasirimu bwekabarukawo muyuganda abakulembeze abasing mu Africa okukasirikira nga bekobanye n’abalonzi babwe nti ddogo okutuusa pulezidenti Museveni bweyavayo nalangirira kabaate akali kakoledde Uganda nga kali kaleteddwa sirimu nasaba abakugu okusomesa banayuganda engeri sirimu gyakwatamu okumwewala n’okumujjanjaba nga kino kyamumala amannyi era bangi bakulembeze banne baamusiima n’ebirabo n’awangula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top