Amawulire

M7  alaze ebintu 8 ebirina okunywezebwa.

Pulezidenti Museveni alaze ebyayamba eggye ly’akulembera okuwangula olutalo olw’emyaka etaano n’akuutira Bannayuganda okunyweza ebintu munaana.
Yabyogeredde mu kukuza olunaku lwa Tarehe Sita mu kisaawe e Kakyeka e Mbarara, amagye kwe gajjuukiriridde emyaka 42 bukya abayeekera ba NRA balumba
enkambi ye Kabamba e Mubende, eyali emmanduso y’olutalo olwamala emyaka etaano.


Museveni yagambye nti we baalumbira Kabamba baali abantu 43 nga balina emmundu 23. Ekigendererwa kyabwe kyali kya kuwamba mmundu eziwera, kyokka tebaasobola
kukituukiriza oluvannyuma lw’omujaasi wa Tanzania okubalemesa bwe yabasasiramu amasasi ne batwalako emmundu 40 zokka.
Yagambye nti, ebimu ku byabayamba okuwangula kwe kuba nga abantu baabulijjo baali beetamiddwaebikolwa by’obukambwe n’okubatulugunya ebyali bikolebwa amagye ga Gavumenti.
Gavumenti ya UPC eyali mu buyinza yali tekyagoberera nkola ya demokulaasi ey’abantu okwerondera abakulembeze be baagala.
Ebyenfuna by’eggwanga byali bigudde nnyo. Olw’okuba nga NRM yajja n’enkola y’okulumirirwa eggwanga nga tebakkiririza mu nkola ya kulowooleza mu mawanga n’amadiini kyayanguyira abantu okugiwagira. Eno y’ensonga lwaki we baawambira
obuyinza mu 1986, baali bawezezza emmundu 20,000.
Museveni yasiimye eyali pulezidenti wa Libya Muamar Gadafi olw’okuwaayo emmundu eziwera 800 eri olutalo n’eyali Pulezidenti wa Tanzania Julius Nyerere eyawaayo emmundu 8,000.
“Emmundu ezisigadde Gavumenti ya Obote yatwanguyizaako nga ze bagula okuva ebweru ze tuwamba,” Museveni bwe yagambye.
Alaze ebirina okutambulirwako
l Buli muntu alina okutandika okukola n’ekiruubirirwa ky’okufunamu ssente. Yagambye nti mu kiseera kino ebyenfuna bikulaakulanye okuva mu 1969 abantu bana bokka we baabeerera nga be bakola okufuna ssente. Kyokka mu kiseera kino abantu 61 be bakolera ssente ng’abantu abakyakolerera olubuto bali 39 ku 100.
l Abasobola yabawadde amagezi beenyigire mu bulimi, ebyamakolero, n’ebya tekinologiya.
l Bannayuganda yabakunze bajjumbire enkola y’okufukirira ebirime nga balima. Kino kijja kuyamba okulima n’okukungula ekiseera kyonna okusinga okulindanga enkuba olubeerera.
l Gavumenti eruubirira okulaba ng’egaziya ebyentambula ng’ekola amakubo n’eggaali y’omukka kisobole okwanguyiza ebyamaguzi okutuuka mu butale.
l Eggwanga lirina okubeera n’ebisaawe eby’omulembe omuzannyirwa ebyemizannyo. Yagambye nti kino kibadde tekiteekeddwaako nnyo ssira olw’ebyetaago ebirala ebitalinda.
l Okusoma kulina okuba okw’obwereere mu masomero a Gavumenti aga pulayimale ne
siniya. Pulezidenti yagambye nti yakitegeddeko nti waliwo abakulira amasomero abasaba abayizi ssente mbu za kusasula basomesa ba Arts kye yagambye nti tayinza kukigumiikiriza.
l Ekizibu ky’enguzi yagambye nti kirina okulwanyisibwa nga batandikira ku bukiiko obugaba emirimu gya Gavumenti.
l Eky’okusaanyaawo obutonde bw’ensi kirina okukomezebwa nga balwanyisa abantu abasaanyaawo entobazzi, ebibira, emigga, ebisaalu n’abakolera mu ntobazzi.


Bamuwadde omudaali ogusingayo
Ku mukolo guno Pulezidenti Museveni kwe baamuweeredde omudaali gwa Katonga Star Medal nga kye kitiibwa ekisingayo okuba eky’amaanyi mu magye. Omudaali gwamwambaziddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo olw’okulwanirira emirembe. Gen. Salim Saleh, Gen Ivan Koreta ne Brig. Bosco Omule nabo baaweereddwa emidaali gya Kabalega Star medals.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top