Amawulire

Maama akkirizza okutaasa mutabani we .

Maama w’omubaka we Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akkirizza okutwala omutabani mu ggwanga lya Netherlands, okutaasa obulamu.
Ssegirinya ali mu ddwaaliro e Nsambya ng’ali mu mbeera mbi, yetaaga ssaala.
Ssegirinya agamba nti alina endwadde ez’enjawulo omuli Kkansa w’olususu, ekibuumba kirwadde nga kyonna kuliko amabwa ate alina obuzibu bw’okuwunga.
Nga tusemberedde okumalako omwezi oguwedde ogwa November, 2023, Ssegirinya yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Nsambya okudda mu makaage e Kawempe.

Wabula ku Lwokusatu ekiro nga 29, November, 2023, Ssegirinya yazziddwa mu ddwaaliro e Nsambya ng’ali mu mbeera mbi.
Yatuuse mu ddwaaliro ng’ali ne nnyina Nakajumba, mikwano gye n’abantu abalala nga bamukwatiridde.
Agava mu ddwaaliro galaga nti Ssegirinya ayongedde okunafuwa ng’azimbye olubuto era abasawo bakola kyonna ekisoboka okumuwa obujanjabi.
Olw’embeera ya Ssegirinya, nnyina Nakajumba agamba nti okutwala omutabani ebweru, kyekigenda okuyamba okutaasa obulamu.
Ssegirinya yali yasaba dda bamutwale mu ddwaaliro University Hospital in Amsterdam.

Wabula nnyina Nakajumba yali yagaana eky’okutwala Ssegirinya ebweru w’eggwanga kuba ayongedde okunafuwa nga kyabulabe nnyo okumuteeka ku nnyonyi.
Maama Nakajumba era yali yategeeza nti mu Netherlands waliyo omuzira mu kiseera kino ng’obunyogovu buyinza okukosa mutabani we.
Wadde mu kusooka yali alowooza nti Ssegirinya ayinza okufuna obujanjabi bweyetaaga mu Uganda, olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, maama yabadde akulembeddemu entekateeka zonna okulaba nga Ssegirinya bamutwala ebweru w’eggwanga okufuna obujanjabi naye akooye okulaba omutabani ng’ali mu bulumi.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top