Amawulire

Maama asse abaana be nabaziika mu nnyumba.

Poliisi y’e Kira ekutte maama Rose Musubika myaka 27 amanyikiddwa nga Musiya ku misango gy’okutta abaana ne, nabaziika mu nnyumba.

Musuyi, mutuuze ku kyalo Buwagi cell mu Northern Division mu kibuga Jinja.

Omukyala yalabiriza bba Paul Kagoda amanyikiddwa nga Kyagulanyi ng’agenze safari ku kyalo Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe, okutta abaana n’abaziika mu nyumba.

Omukyala Musubika  mu kwanukula, agamba nti omuzimu gwa Nalubaale gwe gwatta abaana.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu Kira agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula lwaki omukyala yasse abaana.

Poliisi eteebereza nti ekigendererwa kya Musubika kwabadde kusaddaaka.

Ate amyuka RDC mu Jinja North, Lydia Karemera agamba nti omukyala balina okumutwala mu ddwaaliro okwekebejjebwa omutwe okuzuula oba ddala talina buzibu.

Mu kiseera kino omukyala Musubika akuumibwa ku Poliisi y’e Budondo ku misango gy’obutemu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top